Amawulire

KCCA eyungudde abaserikale 3,000 okutereeza Kampala

GAVUMENTI eyungudde ebibinja by'abaserikale 3,000 okulawuna enguudo z'omu Kampala nga bakola ne KCCA okukwata abakolera mu bifo ebikyamu.

Omukyala ng’aliko by’agula ku nguudo z’omu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

GAVUMENTI eyungudde ebibinja by'abaserikale 3,000 okulawuna enguudo z'omu Kampala nga bakola ne KCCA okukwata abakolera mu bifo ebikyamu.
Tebagenda kutaliza wadde ttakisi oba bodaboda eneesangibwa ng’esimbye oba ng’etikkira mu kifo awatali siteegi. Kino kyalangiriddwa minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye eggulo ku Lwokuna, mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Media Centre. Yabadde ne dayirekita wa KCCA, Hajjat Sharifah Buzeki n’omwogezi w’ekitongole kya poliisi, Kituma Rusoke.
Kyofatogabye yalangiridde nti, ku ssaawa 6:00 ez’ekiro (ekyakeesezza Olwokutaano), ebibinja by’abaserikale okuva mu bitongole okuli ekya KCCA ekikwasisa amateeka mu kibuga, poliisi n’ebitongole bya bambega eby’enjawulo, bagenda kuba bayiiriddwa ku nguudo.
Yalangiridde nti bagenderera kutereeza kibuga kitandike okutambulira ku mateeka, okukuuma abakolera mu maduuka abasasula emisolo, okutereeza omuddo n’okukuuma ebibangirizi by’enguudo bikozesebwe kye biteekeddwa okukola n'abatambuza ebigere beetaaye nga bagula ebyamaguzi.
Yagasseeko nti, tewali akkirizibwa kutundira byennyanja ku Mini Price oba amatooke ku Luwum Street wadde okusiikira empuuta mu paaka za ttakisi, nti anaakwatibwa bagenda kumuvunaana.
Yafulumizza olukalala lw’ebifo ebikalu mu butale bwa KCCA ebiwera 2,520 n’ebirala ebiri mu butale bw’obwannannyini n’ebweru w'ekibuga nti, byonna birindiridde bantu kugenda beewandiise babikoleremu.
Yalaze nti KCCA etaddewo n’omukisa ku kifo kyayo w'eyambira abavubuka abatalina mirimu bagende babayambe okutundira ebintu ku mutimbagano. Yasiimye abaategedde ekiragiro mu budde ne bava ku nguudo naddala abavuzi ba ttakisi nti kyokka abakyaziremezzaako baakusindikibwa mu makomera.
ABA TTAKISI
Yalagidde nti, emmotoka zonna ezisaabaza abantu ziyingire mu paaka eziriwo mu Kampala entongole okuli; enkadde, empya, eya Namirembe Road, eya Ggwanda ne USAFI ssaako Valley Park. Takisi eneesangibwa ng’etikkira ku luguudo, egenda kuyoolebwa.
BODABODA
Minisita yakudaalidde abavuzi ba bodaboda n’abagamba nti yabeegayirira bawandiikibwe n’okutuukiriza ebisaanyizo bya KCCA naye bangi baagaana.
“ Tulina siteegi 929 mu kibuga kyonna ekikolebwa ggombolola ttaano okuli Kampala Central, Kawempe, Nakawa, Lubaga ne Makindye era siteegi 160 ze zikakasiddwaako zokka. Abaagaana okwewandiisa ku siteegi bubakeeredde, bagende,” Kyofatogabye bwe yalagidde.
Omwogezi wa poliisi, Kituma Rusoke yagambye nti ebitongole bya Gavumenti byonna ebikuumaddembe byegasse ku KCCA okutereeza ekibuga.
“Ani atayagala kulaba kibuga kikulaakulana nga kikolera ku mateeka era nga kirimu essanyu? Abakolera mu bifo ebimenya amateeka buli omu agondere KCCA ng’omukono omuwanvu tegunnamutuukako,” Kituma bwe yagambye