HEEDIMASITA eyagobeddwa Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja ng’amulanga okusaka obuyambi mu balokole, Gavumenti emuwadde essomero eddala eritali lya kkanisa okulikulembera.
Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso, Prim Ritah Nanyanzi yategeezezza nti, Lugoloobi yasindikiddwa ku ssomero lya Katiiti Baptist mu ggombolola y’e Kakiri e Wakiso okulikulembera.
Amos Lugoloobi abadde heedimasita w’essomero lya Kabale C/U P/S e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso, ye yagobeddwa Banja oluvannyuma lw’okusaba obuyambi okuva mu “Jesus Christ of Latter-Day Saints” okusobola okuzimba ebizimbe ku ssomero. Lugoloobi kigambibwa nti, yagenda ku disitulikiti okusaba obuyambi bw’ebizimbe oluvannyuma lw’enkuba eyalimu kibuyaga okusuula ebizimbe by’essomero kyokka disitulikiti nga terina ssente mu kiseera ekyo.
Ono nti, yagenda n’e Namirembe n'abawa okusaba kwe ng’ayagala Obulabirizi bumuzimbire ebizimbe kyokka n'atafuna kuddibwamu kutuufu era ye ng’omuntu, n’asalawo okunoonya abayambi abasobola okumudduukirira.
Lugoloobi nti, yafuna aba “Jesus Christ of Latter-Day Saints’’ abaamuwa obweyamo bwa kuzimba ebizimbe 4 ku ssomero era ne bakikola nga kati babadde baddako kuzimbira basomesa nnyumba mwe basula n’ennyumba ya heedimasita.
Kyokka abazadde abamu beemulugunyizza nga bagamba nti, ekikolwa Banja kye yakoze si kya butuukirivu kuba nti baasaba okubazimbira ebizimbe kyokka ne batabayamba. Baagambye nti, ekya Lugoloobi okufuna obuyambi ate ne bamusasulamu kumugoba, kyabennyamizza.
‘TEMUGEZA NE MUMENYA EBIZIMBE’
Abatwala ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso bakalambidde ku kumenya ebizimbe ebyazimbiddwa. Nanyanzi yalabudde Namirembe obutagezaako kumenya bizimbe bya ssomero kuba, nga Gavumenti ebizimbe ebyetaaga ate byazimbiddwa ku mutindo gwa waggulu ekigenda okuyamba abayizi okusoma awatali kusumbuyibwa.
Yagambye nti, Namirembe bwe yasabye okuggyawo Lugoloobi mu ssomero, baagigondedde ne bakikola. N’agattako nti, heedimasita obukozi bw’ayolesezza ku ssomero lino agenda kubukozesa ku ssomero eddala gye baamutumye.
Ensonda e Namirembe zaategeezezza nti, akakiiko k’abazadde n’abasomesa kaayitiddwa e Namirembe ku Lwokusatu ne kabuuzibwa ku ndagaano ezaatuukibwako mu kuzimba. Baategeezezza nti, waliwo Abaawule abaatuulanga mu nkiiko ezaasalawo era ne ofiisi y’ebyenjigiriza e Namirembe yabitegeerako