Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi poliisi gy'egusanze.
Kigambibwa nti ono, yasembye okulabibwako ku pikipiki nga bali ne David ow'emyaka 25 nga mutuuze w'e Mukoka mu muluka gw'e Mpakitoni mu ggombolola y'e Bulopa.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti omulambo bagusanzeeko ebiwundu ebiwerako eby’ebiso era nga baguggyeeyo ne bagutwala mu ddwaaliro kya Kamuli General Hospital okugwekebejja nga bwe bayigga omutemu.