Poliisi ekyagenda mu maaso n'okukunya omukazi agambibwa okusangibwa ne paasipooti za Bannayuganda eziwerako e Soroti.
Kigambibwa nti omukyala ono, asangiddwa ne pasipooti 261, kkaadi ya ‘yellow fever’ emu ne satifikeeti eziwerako mu kifo mw'abeera.
Bino, bibadde mu Orwadayi e Soroti, omukyala ono bwe bamusazeeko ne bamusanga ne paasipooti wamu n'ebiwandiiko ebiwerako.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rosoke, agambye nti era bamusanze ne lisiiti z'ekitongole ky'ebyemisolo (URA) era nga bakyagenda mu maaso