EBIBINJA by’abaserikale ebikulembeddwa aba KCCA bakedde kusaasaanira ku nguudo mu Kampala okutaayiza aba takisi ne bodaboda abaalagiddwa okuyingira ppaaka n’okukolera ku siteegi zokka entongole.
Buli wa bodaboda abadde agezaako okuwagaanya mu luguudo lwa Non Motorized Transport Corridor (NMTC) olwagobwako pikipiki babadde bakwatibwa n’okugobwa. Okutandikira ku kifo awaali Pride Threatre ku Namirembe Road okukkirira ku Blue Room tewakkirizibwa siteegi ya boda yonna.
Okuva ku kizimbe kya Qualicel Bus Terminal okugenda ku Luwum Street, KCCA bataddewo obupande obulaga nti, tewali pikipiki ekkirizibwa kusimbawo. Ababadde bagezaako okuwagaanya bayitewo ng’abaserikale ba KCCA babayoola.
Takisi nazo baazigobye ku nguudo ne baziragira ziyingire mu Ppaaka Empya n’Enkadde ssaako eya USAFI, Ggwanda ne Namayiba.
Abasuubuzi abaabadde bakyalemedde mu bikuubo nga Kinnamwandu, Kikuubo Kisenyi bonna baagobeddwa. Embeera eri mu kibuga kati abalina amaduuka geetadde. Wabula ababadde bakolera ku nguudo bangi bakyayimiridde ku bbali okumanyiira embeera.
Ssentebe wa bodaboda mu ggwanga, Frank Mawejje yakubirizza aba boda abatalina siteegi okwewandiisa babafunire.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti, ebikwekweto bikyagenda mu maaso era yasiimye abantu abavudde ku nguudo ne batatawaanya KCCA