Amawulire

"Nnyikiza enjiri y'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka"

OMUDUUMIZI wa poliisi mu Kampala n'emiriraano omuggya ACP Ezekiel Ebapu Emitu, ayingidde ofiisi leero mu butongole ng'adda mu bigere bya CP Richard Ecega.

"Nnyikiza enjiri y'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka"
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUDUUMIZI wa poliisi mu Kampala n'emiriraano omuggya ACP Ezekiel Ebapu Emitu, ayingidde ofiisi leero mu butongole ng'adda mu bigere bya CP Richard Ecega.

Omukolo, gukuliddwa akulira ebikwekweto mu poliisi, AIGP Frank Mwesigwa ku CPS mu Kampala era nga gwetabiddwako abakulembeze mu poliisi ab’enjawulo.

Abatudde wansi: Ecega (ku kkono),Mwesigwa wakati ne Emitu ku ddyo abatudde ku ntebe oluvannyuma lw'omukolo gw'okuwaayo ofiisi

Abatudde wansi: Ecega (ku kkono),Mwesigwa wakati ne Emitu ku ddyo abatudde ku ntebe oluvannyuma lw'omukolo gw'okuwaayo ofiisi

Mu kwogera kwe, Mwesigwa, asiimye Ecega olw'emirimu emirungi gy'akoze mu kiseera ky'abaddewo era n'asaba amuddidde mu bigere okumanya nti ekitundu kino, kyetaaga enkolagana ennungi n'omuntu wa bulijjo n'okunnyikiza enjiri y'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka.

Okubeera n'empuliriziganya ey’amaanyi ku mitendera gyonna, okubeera n'okusalawo okutuufu ate mu bwangu n'okukolagana obulungi ne bakulembera.

Ecega (ku kkono) ng'akwasa Emitu ofiisi.

Ecega (ku kkono) ng'akwasa Emitu ofiisi.

Amusabye okukola emirimu mu ngeri ey’ekikugu, okubunyisa enjiri y'okutangiramu obumenyi bw'amateeka, okwongera empisa mu bantu b'atwala n'okubalondoola obulungi mu nkola y'emirimu.

Tags:
Amawulire
Bumenyi bw'amateeka
Njiri
Kulwanyisa
Kulwana