Amawulire

Ebyalwanyizza Abakristaayo mu kkanisa ya Katwe Martyr’s mu kulonda

OKULONDA abakulembeze mu kkanisa ya Katwe Martyr’s kwaggweeredde mu kulwanagana na kwesika bitoji wakati w’omusumba, n’Abakristaayo. Bino byabaddewo ku Ssande, mu kusaba kwa ‘Service’ esooka ku ssaawa 12:00 ez’oku makya.

Ebyalwanyizza Abakristaayo mu kkanisa ya Katwe Martyr’s mu kulonda
By: Nangonzi Joanitah ne Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

OKULONDA abakulembeze mu kkanisa ya Katwe Martyr’s kwaggweeredde mu kulwanagana na kwesika bitoji wakati w’omusumba, n’Abakristaayo. Bino byabaddewo ku Ssande, mu kusaba kwa ‘Service’ esooka ku ssaawa 12:00 ez’oku makya.

 

Obutakkaanya bwavudde ku mugagga Can. Gaster Lule Ntake n’abagambibwa okubeera mu kabinja ke abaavudde mu mbeera nga baagala okulonda kuyimirizibwe oluvannyuma lw’okukizuula nti erinnya lye lyabadde liggyiddwa ku lukalala lw’abeegwanyiza ekifo ky’oweebyenkulaakulana.

 

Okulonda kwakulembeddwaamu omusumba w’ekkanisa eno, Flobia Ssebunya era yasoose kulung’amya ebirina okugobererwa n’okwanjula ebifo ebyabadde birina okulondebwa.

 

Okulonda kwagenze okutandika nga Ntake tannatuuka era kigambibwa nti ab’ekiwayi kye okuli muwala we, Hellen Nsereko ono nga ye yalondeddwa nga owa Mothers Union ne bba, Paul Nsereko owa Fathers Union ssaako Peter Yiga nga omukozi we eyabadde yeegwanyiza ekifo ky’omukubiriza w’ekkanisa eno nga kigambibwa nti omu ku bano ye yamukubidde essimu okumutegeeza nga bwe yabadde aggyiddwa ku lukalala lw’abalina okulondebwa ku kifo ky’ebyenkulaakulana.

 

Wakati ng’okulonda kugenda mu maaso, Ntake yayingiddewo n’akwata akazindaalo n’awakanya ebyabadde bigenda mu maaso. Yakutte obululu obwabadde mu bbaketi n’abuyiwa. Wano omusumba Ssebunya we yaviiridde mu mbeera n’amulumba ne bagwang’ana mu malaka.

 

Abagambibwa okuba ab’akabinja ka Ntake abalala baakutte bbaketi z’obululu ne bafuluma nazo wakati mu kacankalano era abeebyokwerinda be baabakomyeko.

 

Byabadde bigenda mu maaso ng’ebyokwerinda binywezeddwa okwetooloola ekkanisa ng’ensonda zaategeezezza nti waabaddewo n’abeebyokwerinda abaabadde mu ngoye eza bulijjo. Oluvannyuma lw’effujjo, Ntake n’akabinja ke baafulumye ekkanisa wabula okulonda ne kugenda mu maaso.

 

BALUDDE NGA BAKUYEGA ABAKRISTAAYO
Akamu ku butambi Bukedde ke yafunyeeko, mulimu Omukristaayo eyeeyanjula nga Peter Yiga ng’akuyega Abakristaayo okumulonda ku bukubiriza.

 

Agenda mu maaso n’abategeeza nti ekifo akyagala ekisanja kimu akyuse ekifaananyi kya Katwe Martyrs. Mu katambi, alumiriza abakulembeze abali mu buyinza okwekobaana okumulemesa okubaako ky’ayogera mu kkanisa ate nga y’omu ku bakulembeze mu ‘Service’ y’essaawa ebbiri.

NTAKE ANNYONNYODDE
Bukedde bwe yakubidde Ntake ku nsonga eno, yatutegeezezza nti talina ky’agyogerako, wabula oluvannyuma yakutte akatambi ke yatadde ku mukutu gwa Tiktok n’ategeeza nti okulonda kwabaddemu ebintu ebitali byangu bya kukkiriza naye ng’olumu oguma n’okuuma ekitiibwa ky’Ekkanisa.

 

Yagambye nti; “Ebyasoose byatabusetabuse naye nga kye tunoonya kwe kufuba okulonda okutereevu. Omusumba yalonda abantu ku bifo ye by’ayagala era nze n’ampa ekifo ky’omubaka w’obusaabadinkoni era ku lw’obulungi bw’ekkanisa nja kuweereza naye nga si kifo kye nabadde njagala, kubeera wabyankulaakulana,” Bwatyo Ntake bwe yayogedde mu katambi.

 

Yalumirizza ng’okulonda bwe kwabaddemu obubbi kuba abaalonze baabadde bangi nnyo okusinga abalonzi. Ekifo ky’omukubiriza kyawanguddwa Nnaalongo Sarah Kalyango era nga y’abaddeko.

 

AVUMIRIDDE EFFUJJO
Eyali omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Can. Nelson Kaweesa eyabaddewo ng’omulung’amya, yavumiridde ebyabaddewo n’agamba nti bittattana ekitiibwa ky’Ekkanisa.

 

Omusumba Ssebunya yagumizza Abakristaayo nti okulonda kwabadde kwa kugenda mu maaso kuba kwali kwateekebwateekebwa.

 

MUNNAMATEEKA W’OBULABIRIZI
Mu lukiiko lw’obulabirizi olwa Synod ya 2025, Cansala w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Fredrick Mpanga yalung’amya ebirina okugobererwa mu kulonda kw’abakulembeze mu kkanisa ku mitendera egy’enjawulo.

 

Ekimu ku bye yasinga okusimbako essira, kuliko abalina okwetaba mu kulonda okubeera Abakristaayo abamanyiddwa mu kkanisa eyo, abantu abamazeeko ebisanja ebibiri obutaddamu kwesimbawo ku kifo kye kimu, Omukristaayo takkirizibwa kubeera mukulembeze mu bifo bibiri eby’amaanyi mu kkanisa y’emu n’obutakola kakuyege okubalonda.

Tags:
Amawulire
Kulonda
Katwe Martyrs Church