IRAN eyongedde okunyweza ebyokwerinda by’omukulembeze waabwe ow’oku ntikko omukambwe Ayatollah Ali Hosseini Khamenei mu kiseera kino eyeekukumye e buziizi ng’abantu bana bokka be bamutuukako kyokka nga nabo tebeemanyi.
Okumanya Iran ekukulidde Ayatollah e bubiizi, ku basajja abana bokka abamutuukako, waliwo ebitongole ebyokwerinda 5 ebiweereddwa obuvunaanyizibwa okumukuuma.
kyokka, buli kitongole kimanyi nti kyo kyokka kye kiri ku mulimu ogwo ate nga ne kye bakuuma tebakimanyi okuggyako okutegeezebwa nti obuvunaanyizibwa bwe baweereddwa bwe babuggusa, baakugenda mu ggulu butereevu so singa gubalema baakufuna ekikolimo ku nsi ne mu ggulu, ekikolimo kirondoole n’abaana baabwe, n’abehhanda zaabwe emyaka gyonna.
Okusinziira ku mukutu gwa Intelli Times ogufulumya amawulire ag’ekikessi, Iran yataddewo ebibinja eby’enjawulo ebivunaanyizibwa ku bukuumi bwa Ayatollah, nga byonna bivuganya mu ngeri y’okunoonyaamu amawulire ag’ekikessi n’obukuumi era buli kitongole tekimanyi kinnaakyo ate nga buli kimu kiketta kinnewaakyo, okwewala abakessi ba America okutuuka ku Ayatollah nga teri ategedde.
Ku bantu abatuukirira Ayatollah, tekuli akkirizibwa kukozesa ssimu kuwuliziganya na munne nga boogera ku bukuumi bwa Ayatollah, ng’obubaka babutambuliza mu bigambo ebisabike, okwewala America okuketta amasimu n’emanya enfo Ayatollah we yeekukumye.
Obukuumi buno Iran bwe yataddewo, yeeyambisizza eby’okuyiga mu bunafu obwali mu by’okwerinda by’abakambwe abazze battibwa okuli eyali omuduumizi wa Hezbollah, Hassan Nasrallah, eyali akulira abakambwe ba Hamas, Ismael Haniyeh ng’ono baamuttira munda mu Iran, era ne beetegereza n’engeri America gye yayodde Pulezidenti wa Venezuela, Nicolas Maduro.
America yabadde etegese okukola olulumba ku wiikendi, kyokka bwe yakitegedde nti eby’okutta Ayatollah biyinza okuba ebizibu, Pulezidenti Trump n’atta ku bigere era kati bagenero be nga bali n’aba Yisirayiri bali mu kuyiiya Pulaani mpya.
Ensonda mu Pentagon, ekitebe kya Amerika eky’entalo ekya Department of Wars (edda ekyali kiyitibwa ‘Defence Department’ zaategeezezza nti Trump yawa dda ekiragiro ku nsonga za Iran nti tayagala lutalo kulwawo bino ng’ebya Russia ne Ukraine oba ng’ebyali mu Afghanistan oba Iraq wabula ayagala kukuba Iran mu nnaku bunaku.
Trump ayagala Amerika okukuba Iran olukuba tonziringa aleke ng’agifufuggazizza nga bwe yakola Japan mu 1945, era mu nteekateeka eno Trump ayagala Ayatollah entamu eyiye evuunikibwe ku lunaku olusooka olw’olutalo ne bannaddiini ab’oku ntikko ne bannamagye ba Iran ab’enkizo b’atambulizaaako obwannalukalala bwe awo, bannansi ba Iran baanguyire okulonda abakulembeze abanazza Iran ku maapu.
Okusinziira ku mukutu gwa The Telegraph, Trump basajja be baamuwadde Pulaani ey’okuwangulamu olutalo ne Iran amangu, nga yaakutta abantu ab’enkizo okutambulira gavumenti y’abakambwe, nga Ayatollah y’akulembedde, ne kuddako mutabani we Mojtaba Khamenei ng’ono y’asuubirwa okusikira kitaawe singa abeera attiddwa, kwossa Bannaddiini abakambwe okuyimiridde gavumenti ya Ayatollah.
America erowooza nti ssinga abantu bano battibwa omulundi gumu, Iran egenda kuba enafuye, abanaasigalawo bakkirize mangu ddiiru ya America, eby’okukola bbomu ya nukiriya babiveeko, kwossa mizayiro ezikuba ewala.