Amawulire

EBITONGOLE by'okwerinda bikutte abantu abasoba mu 1905 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka okwetoloola Uganda

EBITONGOLE by'okwerinda bikutte abantu abasoba mu 1905 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka okwetoloola Uganda 

Rusoke ng'ayogera mu lukung'aana lw'abannamawulire
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

EBITONGOLE by'okwerinda bikutte abantu abasoba mu 1905 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka.

Rusoke omwogezi wa Poliisi mu gwanga bino abitegeezezza bannamawulire leero ku kige kya Poliisi e Naguru. Rusoke agambye nti baasazeewo okukola ebikwekweto mu tundu eby'enawulo oluvannyuma lw'okufuna okwemulugunya ku social media ne mu bitundu ebirala.

Entebbe bakutte 20 nga 4 bali bakozesa ebissi okubba abantu. Mu bitundu bya Elengu bakwata 30 bebasanga, Ku lugudo lwa lugogo by pass bakwata abanyagulula abantu mu mottoka.

Ku katambi akasasanya ku mikutu nga kalaga abazigu mu kisenye abanyaguludde ne balumya abantu Poliisi ekutteko 3 ne piki-piki 3. Rusoke agamba nti abantu baabulijjo babayamye nyo okukwata abamenyi bamateeka.

 Agamba nti abebyokwerinda bagenda kutandika okukunya abantu abatambula okunonya abamenyi bamateeka. Rusoke alabudde abantu abasoma n'abalina abakungu nti bagenda kubakwata nga banagenda okukuba esimu ekubanunula nga Bamaze okubaggulako emisanho emisango.