MUKAWEEFUBE ow'okukulaakulanya n’okukuuma ennimi enzaaliranwa, Yunivasite y’e Makerere eyolesezza tekinologiya anaasobozesa okuzitumbula okutuuka ku ddaala ly'ensi yonna.
Ku tekinologiya gwe boolesezza, kuliko akyusa amaloboozi ag'ennimi engwiira n’agazza mu bigambo ebiwandiike mu kyapa eky'ennimi za wano, wamu n’okukyusa ebigambo eby’ennimi engwira n’abizza mu maloboozi ag’ennimi zaffe okusinziira ku lulimi omuntu lw’ayagala.

Kubaddeko ne tekinologiya avvuunula ebigambo okuva mu Lungereza oba olulimi olulala lwonna olugwiira okubizza mu nnimi za Uganda ennansi. Balaze ne tekinologiya eyambako mukulaga n’okugolola ensobi abakozesa kompyuta oba ebyuma ebirala byonna bikalimagezi zebakola mu mpandiika entongole eyennimi zaffe enzaaliranwa.
Mungeri yeemu ababadde ku mwoleso guno beelabidde ne ku tekinologiya eyeeyambisibwa mukusomesa abantu enjatula ey’ennukuta n’ebigambo eby’ennimi za wano enzaaliranwa. Mu buwufu buno bwe nnyini, balaze n’omukutu ogw’okumutimbagano ogukozeza Oluganda omuntu gw’asobola okuyitamu n’afuna obubaka obukwata ku bintu ebitali bimu mu Uganda.
Wabula tebakomye kukulaga tekinologiya yekka, naye balagiddemu n’ebitabo eby’enkizo ebikwata ku Uganda n’ebyayo nga muno mwe mubadde n’ekitabo eky’ensinza ey’Obujjajja ekiyitibwa BULAMU.

Kyabazinga, Katuukiro wa Busoga ssaako n'omuwandiis ow'enkalakkalira mu minisitule y'ekukla ky'abantu
Akuliddemu omwoleso guno, Dr. Nelson Nsereko, ategeezezza nti, Yunivaasite y’e Makerere esomesa ennimi enzaaliranwa munaana eranga baasookera ku Luganda mu 1976. Ennimi endala ze basomesa kuliko Oluswayiri, Runyakitala, Luo, Oluteeso, Olusoga n’endala.
Omwoleso guno Makerere egukoledde ku mukolo ogw’okujaguza olunaku lw’ensi yonna olw’ennimi enzaaliranwa.
Omugenyi omukulu abadde Kyabazinga wa Busoga, Gabula Nadiope IV, eranga ku mukolo guno kwe yasinzidde n’atongoza okusomesa Olusoga ku Yinivasite y’e Makerere.
Dr. Nsereko agambye nti ku mulundi oguyise baayita Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II olw’ensonga nti abakulembeze ab’ennono bakola omulimu gwa ttendo mukukunga abantu n’okutumbula ennimi enzaaliranwa.

Omuwala n'omuvubuka nga bali ku computer omuli tekinologiya avvuunula ennimi engwiira
Mu bubaka bwe, Kyabazinga agambye ennimi enzaaliranwa zisukka ku ky’okubeera obubeezi ekintu kye tukozesa okwogerezeganya ne zituwa endabika eyaffe ey’enjawulo kubalala, ssaako okulaga ebyafaayo n’ekitiibwa kyaffe, era bw’atyo n’akubiriza Abasoga okwewandiisa e Makerere basome Olusoga mungeri ey’ekikugu.
Amyuka Cansala wa Makerere, Prof. Barnabas Nawangwe, agambye nti mu Uganda mulimu ennimi enzaaliranwa ezimanyiddwa ezisoba mu 41, eranga Makerere yeenyigidde mu kuzikulaakulanya ng'eyita mu kusomesa ezimu kuzzo eri abayizi baayo wamu n'okwenyigira mubuyiiya ne ttekinologiya azitumbula.
Okusinziira ku Dr. Nseereko, Makerere yakakuza olunaku lw’ennimi enzaaliranwa emirundi esatu gyokka, newankubandde nga lwatandika okukuzibwa mu nsi yonna mu butongole nga February, 21, 2000