PULEZIDENTI wa Rotary mu nsi yonna Francesco Arezzo akkaatirizza obukulu bw'okukola emikago nga eno yeemu ku ngeri gyebasobola ekuleeta enkyukakyusa mu Africa.

Lulezidenti wa Rotary Frencesco Arezzo ku kkono ate ku ddyo ye Emmanuel Katongole nga bali mu lukung'aana lw'abannamawulire e Munyonyo
Arezzo okwogera bino abadde mu lukungaana lw'abannamwulire ku Speke Resort e Munyonyo era nga wano wasinzidd n'ategeeza nti Africa eringa Empologoma eri ku mwezi era kati kino ky'ekiseera okusitukiramu kuba tewali budde.

Pulezidenti wa Rotary mu nsi yonna Frencesco Arezzo ne mukyala we Anna Maria nga bali mu lukung'aana lw'abannamawulire e Munyonyo
Arezzo asanyukidde eky'okuba nti Uganda ewezezza bammemba ebitundu 15 ku 100 abantu abali mu nkola ya Rotary nga kati kyebeetaaga kwekufuna bannamikago abasobola okubayambako okukyusa embeera mu mawanga ga Africa. "Mmwe mwekka temulina kyemuyinza kukola era temulina kyemuyinza kukyusa mwetaaga bannamikago okubayambako okusobla okuganyurwa mu proeject zammwme" Bwatyo Pulezidenti wa Rotary Arezzo bweyategeezezza