Amawulire

Eddwaaliro lya Mulago bakuzizza olunaku lw’abaana abalina kookolo

ABAZADDE bakubiriziddwa okukomya okweraguza ng’abaana baabwe balwadde obulwadde bwe batategeera, wabula babadduse mu malwaliro basobole okujjanjabibwa nga bukyali kubanga emikisa gy’okuwona gibaawo.

Baggi ne Dr Ann nga boogera
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAZADDE bakubiriziddwa okukomya okweraguza ng’abaana baabwe balwadde obulwadde bwe batategeera, wabula babadduse mu malwaliro basobole okujjanjabibwa nga bukyali kubanga emikisa gy’okuwona gibaawo.
Omusawo w’abaana omukugu mu kujjanjaba endwadde z’omusaayi ne kookolo, era akulira ekitongole ekigatta abasawo abajjanjaba abaana mu Uganda Anne Akullo, yasiimye abazadde abayimiridde n’abaana baabwe okulwanyisa kookolo ow’enjawulo gwe balina era n’abasuubiza nti, nabo bajja kutuuka ku buwanguzi nga abalala bwe bazze bawangulaYasiimye ebitongole eby’enjawulo bwe bakwatagana okubayambako okujjanjaba abaana bano omuli; Oncopharm ababawa eddagala, Uhuru Restaurant abaabawanga emmere okuliisa abaana n’ebirala.
Nga February 15, buli mwaka Uganda yeegatta ku nsi yonna okujjukira olunaku lwa kookolo mu baana nga lujaguzibwa olw’abaana abajjanjabibwa kookolo n’okumulwanyisa mu baana, ssaako okuyimirira awamu ne ffamire ezirina abaana abalina kookoloKu Lwokutaano lwa wiiki ewedde, eddwaaliro lya Mulago National Refferral Hospital lyategeka omukolo gw’okujaguza abaana abo abawangaala ne kookolo ku waadi yaabwe okwongera okubawa essuubi nti, ddala kisoboka okulwana ne bawangula obulwadde buno nga abalala bangi bwe balwanye ne bamuwangula. Baabategekedde ekijjulo, keeki n’okusanyusibwa.
Ku mukolo guno Kennedy Baggi yawadde obujulizi bw’okuwona kookolo w’omusaayi bwe yatandika okufuna obubonero omuli; okuzimba ekifuba, okukolola okutawona, okukaluubirizibwa okussa n’okutuuyana ekiro mu mwaka gwa 2021, wabula yajjanjabwa mangu mu 2024