Amawulire

Omuliro ogwokezza obuduuka e Kireka gusse omwana ow’emyezi 7Omuliro 7

NABBAMBULA w’omuliro ogwakutte obuduuka e Kireka C mu Divizoni y’e Namugongo mu munisipaali y’e Kira gwasse bbebi ow’emyezi omusanvu n’okwonoona emmaali.

Meeya Mutebi (ku ddyo) mu kifo e Kireka awaakutte omuliro.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

NABBAMBULA w’omuliro ogwakutte obuduuka e Kireka C mu Divizoni y’e Namugongo mu munisipaali y’e Kira gwasse bbebi ow’emyezi omusanvu n’okwonoona emmaali.
Ssentebe w’ekyalo kino, Richard Balikoowa yategeezezza nti omuliro gwakutte ku ssaawa 7:00 ez’emisana nga mu dduuka erimu mulimu omwana nga yeebase ne gumutta. Nnyina bwe yalabye omuliro nga gukutte n’adduka ne yeerabiramu omwana era we yajjuukiriridde okumutaasa ng’afudde.
Obuduuka obwayidde kwabaddeko akatunda emifaliso, ebbaala n’obutunda langi, amafuta n’ebirala. Kigambibwa nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku masannyalaze nga gwatandikidde mu dduuka lya mifaliso ne gubuna era ebintu bya bukadde byasaanyeewo kuba poliisi yagenze okutuuka nga byonna muyonga.
Mmeeya wa munisipaali y’e Kira, Julius Mutebi yasaasidde abaggyiiriddwa ebyabwe n’omukyala eyafiiriddwa omwana. Kiteeberezebwa nti omuliro guno gwavudde ku mukyala ono eyabadde afumbira okumpi n’obumu ku buyumba buno.
Mutebi yakubirizza abafumbira mu nnyumba ne mu mbeera y’enzigotta okwegendereza omuliro obutakwata bintu bibaliraanye. Yagambye nti waakiri bafumbire awalala n’ebintu bino okwewala okufiirwa abantu n’ebintu nga bwe kibadde mu kitundu kino.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti omuliro guno gwavudde ku kayumba ka Vincent Ochieno akatunda emifaaliso n’ebizimbisibwa nga mukazi we ye yabadde afumbira ku mmanda era basubiira kwe gwavudde era nga poliisi bakyanoonyereza.
John Kakeeto, omu ku batuuze ku kyalo kino era ng’akolera kumpi n’obuyumba obwakutte omuliro yagambyenti poliisi n’ebimotoka byayo ebizikiriza omuliro bisatu okuva e Bweyogerere, Mbuya ne ku poliisi ya Jinja Road byazze bukubirire okuzikiriza omuliro guno wabula nga gwamaze dda okusaanyaawo ebintu. Abatuuze baasabye Gavumenti okukwatizaako abaafiiriddwa ebintu.