Gavumenti esambazze ebyayogeddwa mukyala wa Rtd.Col.Kiiza Besigye nga Pulezidenti Museveni bweyagaanye Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala okukulembera emisa eyabadde etegekeddwa mu lutikko y’e Lubaga eggulo.Eno aabadde bagenda kusabira abasibe bonna abakwatibwa olw’ebyobufuzi.