Amawulire

Ssaabasumba Muzeeyiabasabye ku Kisiibo

EKISIIBO ky’Abasodokisi kyatandise ku Mmande ya wiiki eno n’obubaka okuva eri Ssaabasumba Jeronymos Muzeeyi (ku ddyo) obubakoowoola okusiga ensigo ey’emirembe mu nsi eno ejjudde obutali butebenkevu, obubbi n’entalo.

Muzeeyi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKISIIBO ky’Abasodokisi kyatandise ku Mmande ya wiiki eno n’obubaka okuva eri Ssaabasumba Jeronymos Muzeeyi (ku ddyo) obubakoowoola okusiga ensigo ey’emirembe mu nsi eno ejjudde obutali butebenkevu, obubbi n’entalo.
Ssaabasumba Muzeeyi agamba nti enjigiriza y’Obusodokisi nga y’entobo y’Obukulisitaayo era ng’esimbuka mu ndagaano empya eyogera kinene ku Mirembe naabo abagirwanirira n’okugigoberera.
“Abalafuubanira emirembe baalangirirwa ng’abaweebwa omukisa era bayitibwa baana ba Katonda (Matayo 5:9). Tukoowoolwa okuggya ebikolwa n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyaffe olw’okuteekawo embeera ennungi mu nsi okutwaliza awamu,” bwe yagambye.
Ssaabasumba Muzeeyi yagambye nti abakkiriza balina okukimanya nti batuuze ba ggulu era balina obuvunaanyizibwa bw’okukyusa ensi eno ebeere nga nnungi okubeeramu buli muntu. “Tukubirizibwa okukuuma emirembe ne bantu bannaffe mu mbeera yonna (Abalooma 12:18).’’
Katonda waffe, Katonda