OMUMYUKA Owookubiri era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa alangiridde nti emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gigenda ku katale ku nkomerero ya wiiki eno bwatyo n’akunga abantu okwetegeka okutandika okuzigula mu bungi.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwe 71 gyakuddukibwa nga April 12,2026 mu Lubiri e Mmengo ate enkeera nga April 13 amazaalibwa gajjaguzibwe.

Minisita Joseph Kawuki ng'ayogera
Waggwa okukubirizza abantu bwaati asinzidde ku mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange-Mmengo bwaabadde atikkula abantu okuva mu masaza okuli Bulemeezi ne Mawogola abaleese oluwalo lwaabwe embuga ku Lwokubiri.
" Mbakubiriza okugula emijoozi wiiki eno ng'eggwaako, mwenyigire mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka. Gino wansi w'Omulamwa ogugamba nti Abaami tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya tutaase omwana omuwala," Nsibirwa bweyakunze abantu.
Oluwalo okuva mu ggombolola z’e Mawogola okuli Mijwala, Lugusuulu, Mateete, Ntuusi luvuddemu 22,183,000/- ate eggombolola y’e Nnyimbwa- Bulemeezi ereese 1360000/- nga zonna wamu ezireteddwa olwa leero nezibeera 23,543000/-
Omuwanika Waggwa Nsibirwa asinzidde wano n’asaba abantu okwongera omutindo mu ngeri gyebawaamu oluwalo lukulakulanye Obuganda.

Omwami w'essaza lye Mawogola Muteesa John Kankaka ng'ayogera
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yasabye abaami okuteeka pulojekiti omuva ensimbi, zitambuze ebitundu byaabwe era n’abasaba okutwala obuvunanyizibwa okukumakuma abantu abaasowagana mu by’obufuzi, batebenkere emeeme.
Omwami w’essaza ly’e Mawogola, John Kankaka yeebazizza Kabaka olw’okubawa Tulakita mu ssaza eyambye ennyo Bannamawogola okutumbula obulimi mu kitundu nga mu myaka egijja mu maaso, oluwalo luvaayo oluwera.
Abaami b'eggombolola ab'enjawulo baayanjudde okusomoozebwa okutali kumu kwebayitamu okutawanyizibwa okuli ensonga z'ettaka.
Emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka giwagirwa Bukedde ne Newvision empapula za Vision Group, Airtel, I& M Bank, Uganda Aids Commission n'ebitongole ebirala nga buli Mujoozi gufunirwa ku 25000/-