Bya Aidah Nakazzi
ABAKYALA batenderezza Pulezidenti Museveni olw'okubasosowaza n'abawa ebifo ebyenkizo mu gavumenti ye ekibayambyeko okukyusa obulamu bwabwe nga abakyala.
Okusinziira ku minister w'ekikula Kyabantu Betty Amongi abakyala mu parliament bali ebitundu 34% nga cabinets erimu abakyala 45 somgate abawandiisi benkalakalila bali ebintu 48% .

Abakayala nga bali mu lukung'aana
Amongi okwogera bino abadde mu lukungaana lw'abakyala olubeerawo buli mwaka nga betegekera okujaguza olunaku lwabakyala olubeerawo nga 8 buli mwaka.
Asinzide wano n'ategeeza nga ne mubyobusuubuzi ssaako ne bwananyini kutaka nabyo abakyala bali wagulu nyo okusinziira ku basajja ekintu kyagamba nti kisinze kuva ku nteekateeka za gavumenti eziwadde ennyo abakyala amaanyi.
Kyoka Ono agamba nti newankubade abaana ab'obuwala abasoma bangi balemererwa okumalako olw'abasajja ababalimbalimba ne babazaalamu kyoka ate oluvanyuma ne babadukako.
Nensonga yobutabanguka mu makaga Amongi agamba nti bweyongedde nga abasajja bangi nga abakyala bangi babonabonera eyo mukasilise.

Abakyala nga bali mu lukung'aana
RoseMary Namayanja amyuka ssaabawandisi we kibiina Kya NRM mu kwogerakwe ategeezeza nga abakyala abenyigira mu bifo bya direct post eranga wano awabude abakyala obutebeera ku bifo byabakyala byoka wabula balumbe nebyo ebyabona abasinga abalowooza nti byabasajjja bokka.
Ono agamba nti enkungana nga zino nnungi kubanga ziyamba abakyala okwekubamu tooci wa webatuuse wawebaagala okubeera ne kiki kyebazaako.
Ye Akulila akakiiko k'eddembe ly'obuntu Mariam Wangadya asabye gavumenti n'essiga eddamuzi okwanguyanga emisango egyenjawulo egibeera giwaabidwa abakyala mu kooti ezenjawulo.
Wangadya agamba emisango gyabakyaala mingi egifumbekedde mu kooti nga tegiwulirizibwa ekibaviiriddeko obutafuna bwenkanya mu kiseera ekituufu.

Abodo ng'ayogera
Olukungaana luno lutegekedwa aba national women’s council eranga sentebe wakakiiko Kano Hajati Farida Kibowa mukwogerakwe asabye gavumenti okulowooza kukyokukendeza oba okujawo sente ezisabibwa mukwesimbawo kubifo ebyenjawulo kibayambe okwongera okwenyigila mubyobufuzi.
Ono era ajukiza president Museveni president Museveni nti nekumulundo guno bwaba agaba ebifo ayongere okubasosowaza nga bwazenga akikola