Amawulire

Bakutte abantu 5 abatalina lukusa kutwala bantu bweru

Poliisi mu Kampala ng'eri n'abakungu ba minisitule y'abakozi n'ekikula ky'abantu, bakoze ekikwekweto ne bakwata abantu 5 abatalina lukusa lutwala bantu bweru.

Bakutte abantu 5 abatalina lukusa kutwala bantu bweru
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi mu Kampala ng'eri n'abakungu ba minisitule y'abakozi n'ekikula ky'abantu, bakoze ekikwekweto ne bakwata abantu 5 abatalina lukusa lutwala bantu bweru.

Kigambibwa nti bano baatondawo amakampuni agatwala abantu ebweru nga tebalina lukusa na layisinsi ebakkiriza kukola mulimu ogwo.

Wabaddewo okwemulugunya okuzze kukolebwa mwe baferera abantu ssente nyingi nga babalimba okubafunira emirimu ebweru n'abalala ne balemera pasipooti z'abantu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abantu babakwatidde mu kkampuni okuli eya Hussinah Travels Ltd, Hasaya Recruitment company Ltd, ne Big dreams visa Experts tours and travels Ltd. Ayongeddeko nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Racheal Kawala
Hussinah Travels Ltd
Bantu
Hasaya Recruitment company Ltd