Amawulire

Abazigu abagambibwa okugezaako okulumba owa mobile money bamunyageko ssente poliisi ebasuuzizza emmundu ne badduka

ABAZIGU abagambibwa okugezaako okulumba owa mobile money bamunyageko ssente e Bugoloobi, poliisi ebasuuzizza emmundu ne badduka. 

Abazigu abagambibwa okugezaako okulumba owa mobile money bamunyageko ssente poliisi ebasuuzizza emmundu ne badduka
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAZIGU abagambibwa okugezaako okulumba owa mobile money bamunyageko ssente e Bugoloobi, poliisi ebasuuzizza emmundu ne badduka.

Emmundu eno omubadde amasasi 4 ng'ezingiddwa mu kiveera, bagisudde okumpi ne minisitule y'ensonga z’omunda mu ggwanga ku Old Portbell Road era ng'abakugu bali mu kugyekebejja.

Kiddiridde ababbi ababadde batambulira ku pikipiki, okugezaako okulondoola omukozi wa mobile money e Bugoloobi nti kyokka poliisi ennawunyi mu kugezaako okubakwata, basuddewo emmundu n'ebabulawo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bali mu kulondoola ababadde nayo .

Mu kusooka Owoyesigyire, ategeezezza nga bwe baliko abantu 42 abaayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Kirinnya, Wandegeya, Kira Rd, Jinja Rd, Old Mulago, Lower Nsoba, Kamwokya, Mawanda Rd, Nansana , Kito A ne B, Namataba ne Kirinnya Main.

Tags:
Bazigu
Amawulire
Mobile Money
Kunyaga
Ssente