SIPIIKA wa Palamenti Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa baliisa buti, oluvanyuma lw’omuduumizi w’amagye era ssentebe w’ekisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) Gen. Muhoozi Kainerugaba okulagira ababaka ba Palamenti abakkiririza mu kisinde kino, okubawagira n’okubalonda baddemu okukulembera Palamenti.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Ssaabawandiisi wa PLU era omubaka w’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende David Kabanda, Muhoozi yagambye ababaka bonna ab’ekisinde kino, okugondera ekyasalibwawo olukiiko lwa NRM olw’oku ntikko (Central Executive Committee) nti Tayebwa ne Among bayitemu nga tebavuganyiziddwa munda mu kibiina kya NRM.

Gen. Muhoozi eyalagidde
Kino kyasaliddwaawo olw’obumanyirivu ababiri bano bwe balina, n’engeri gye bakuttemu emirimu gya Palamenti, n’etabeeramu kavuyo.
Among ne Tayebwa beebazizza Gen. Muhoozi olw’okubakkiririzaamu n’abawa obuwagizi bwe ku bifo bino, ne beeyama okwongera okuweereza eggwanga obulungi.
Ekifo ky’obwa Sipiika abaakavaayo okukivuganyaako kuliko Pulezidenti wa D.P Nobert Mao, Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Persis Namuganza, omubaka omukazi omulonde owa Mbale City Lydia Wanyoto, omubaka omukazi ow’e Mubende Dr. Florence Akiiki Asiimwe, n’omubaka wa Aringa South Yorke Odria Alioni.