Amawulire

Maama Nnaabagereka akubirizza abakyala abalina byebakola okwettanira tekinologiya

NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda akunze Abakyala abaliko emirimu byebakola omuva ssente okujjumbira okukozesa Tekinologiya obutasigalira mabega na mulembe. 

Nnaabagereka mu Maka ga Vicent Ssemanda ne Nantume e Mbizzinnya
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda akunze Abakyala abaliko emirimu byebakola omuva ssente okujjumbira okukozesa Tekinologiya obutasigalira mabega na mulembe.


Okwogera bino asinzidde ku mbuga y'eggombolola ye Buwama- Mpigi mu ssaza ly'e Mawokota bwabadde akuliddemu emikolo gy'okukuza olunaku lw'Abakyala mu Buganda olutambulidde wansi w'Omulamwa ogugamba nti " Okusobozesa abakyala okukulemberamu enkyukakyuka mu by'obusuubuzi, eby'obulamu n'Obutonde bwensi".

Nnaabagereka era agambye nti abakyala balina omulimu munene mu kutaasa Obutonde bwensi kubanga bwebukosebwa, be basinga okukosebwa.

Minisita w'ekikula ky'abantu, Bulungibwansi, Obutonde bwensi n'amazzi, Hajjat Mariam Mayanja yeebazizza Nnaabagereka olw'okubagabanyizaako ku Kitiibwa kye ng'era kati byatambula bazimba ng'era tebakyeetya mu nkola y'emirimu.

Florence Nassanga, omumyuka wa Ssentebe w'abakyala mu Buganda ng'akulembeddemu banne okusanyusa Nnaabagereka

Florence Nassanga, omumyuka wa Ssentebe w'abakyala mu Buganda ng'akulembeddemu banne okusanyusa Nnaabagereka

Joseph Ssewava Mukasa, nga ye Omubaka ow'enjawulo owa Pulezidenti ku nsonga za Buganda ategeezzeezza nga Pulezidenti Museveni bwaali omusiimu eri abakyala ba Buganda olw'okumuwa akalulu era neyeyama nti amaka g'Obwapulezidenti gagenda kukwatagana n'Obwakabaka okutumbula abakyala mu Buganda.

Ye Nnaalongo Nansamba nga y'akulira abasawo b'ekinnansi mu Uganda, asinzidde wano n'akubirizza abantu okujjumbira okukuuma Obutonde bwensi nga basimba emiti.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda ng'ayogera eri abakyala bwebaabadde bakuza olunaku lwaabwe mu Buganda.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda ng'ayogera eri abakyala bwebaabadde bakuza olunaku lwaabwe mu Buganda.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w'enkulakulana y'abantu mu Buganda, Choltilda Nakate Kikomeko, Omutaka Nsamba Aloysius Magandaazi, Omwami akuuma Entebe ya Kayima, Hajj Kagga Kasujja, Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mpigi, Teddy Nambooze, Florence Nassanga nga ye Mumyuka w'akulira abakyala mu Buganda, Juliet Ssenyomo, akulira abakyala e Mawokota n'abalala.

Maama Nnaabagereka nga yetegereza ekibala kya kkooko

Maama Nnaabagereka nga yetegereza ekibala kya kkooko

Nnaabagereka atandise n'okulambula amaka ag'enjawulo okuli ewa Polof. Masagazi Masaazi eyaliko Minisita w'ebyenjigiriza mu Buganda e Mbizzinnya, ewa Juliet Nantume ne Vincent Ssemanda nga gano gegalondeddwa ng'amaka eky'okulabirako wamu neewa Nnamwandu Nakijjoba Ssabiiti e Katikannyonyi.

Ate oluvanyuma alambudde omwoleso gw'abakyala okuva mu masaza ag'enjawulo era nga Mawokota yesinze okwolesa