Amawulire

Abazadde abalina abaana abalina obulemu ku bwongo bawanjagidde Gav't

ABAZADDE b’abaana abalina obulemu ku bwongo balajanidde Gavumenti ebayambe kukubateera eddagala mu malwaliro gaayo ate nga lya bwerere kiyambe kumbeera abaana baabwe gyebayitamu.

Abamu ku baana abaliko obulemu ku bwongo nga bali ne bazadde baabwe
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision
ABAZADDE b’abaana abalina obulemu ku bwongo balajanidde Gavumenti ebayambe kukubateera eddagala mu malwaliro gaayo ate nga lya bwerere kiyambe kumbeera abaana baabwe gyebayitamu.
 
Joseph Kabenge akulira abazadde b’abaana abaliko obulemu mu ggombolola ye Mende mu disitulikiti ya Wakiso, yagambye nti eddagala lyebawa abaana baabwe okusinziira ku bulemu bw’obwongo n’obwomubiri lya beeyi nnyo mu malwaliro g’obwanannyini.
Abamu ku baana abaliko obulemu ku bwongo nga bali ne bazadde baabwe

Abamu ku baana abaliko obulemu ku bwongo nga bali ne bazadde baabwe

 
“Abaana abasinga obulwadde bwebalina buzibu okujanjaba era abasinga bakalubirizibwa okufuna eddagala kuba lya buseere ate liri walako bwogerageranya n’ebitundu gye babeera. Singa balisembeza eno mubitundu byaffe kijja kutuyamba abaana baffe okufuna empereza ennungi.” Kabenge bweyayongeddeko.
 
Yayongedde nasaba Gavumenti era okuteeka abasawo abakugu kundwadde z’obwongo mu malwaliro gaayo kiyambe abaana bano okufibwako singa babeera bafunye obuzibu kuba nti bangi besika ng’abazadde tebamanyi wakutandikira.
 
Embeera eno yawalirizza ab’ekitongole kya Barn Och Kvinnor ekidduukirira abaana abalina endwadde ku bwongo okuddukirira abazadde b’abaana bano nebintu okuli emifaliso, Pampa, Blanket, emmere, nebintu ebirara.
Babadduukiridde n'omufaliso

Babadduukiridde n'omufaliso

 
Abazadde abawerera ddala 300 mu ggombolola ye Mende bebalina okusomoozebwa nga bagamba nti basobeddwa olw’abaana baabwe embeera gye balimu kuba abasinga bazaalibwa n’endwadde ez’obwongo ez’enjawulo sso nga abamu bazaalibwa n’obulemu bw’omubiri.
 
Esther Kisembo omu uku bakulira ekitongole kya Barn Och Kvinnor yategezezza nti baasalawo kutandikira mu ggombolola ye Mende kuba baategezebwa nti eno waliyo abaana bangi abalina obulemu ku bwongo.
 
Yagambye nti buli lwe baba bagenda okuwaayo obuyambi basooka kutunuulira bwetaavu buli mu baana bano nga kuluno baategezeddwa nti abaana tebalina mifaliso kwebasula ssaako eby’okwebikka era nabo nebasalawo nebagula emifaliso, bulanket nebirara.
Abamu ku baana baliko obulemu ku mutwe nga bali ne bazadde baabwe

Abamu ku baana baliko obulemu ku mutwe nga bali ne bazadde baabwe

 
Ye Barbara Komuhangi nga musawo mukugu mubaana abalina endwadde z’obwongo yalaze nti abaana bafuna okukosebwa ku bwongo nga kiretebwa ng’omwana azalibwa oba tannaba kuzaalibwa.
 
Yagambye nti bagezaako okusomesa abazadde bwebeyisa nga bali mbuto ssaako nemukiseera ky’okuzaala kiyambe abaana bebazaala nga tebalina bukosefu bwabwongo n’obwomubiri.
 
Yategezezza nti bagenda kugenda mumaaso nga bagabirira abaana bano ssaako okusomesa abazadde baabwe kungeri gyebalina okubalabiriramu ssaako n’okubajanjaba abaana.