OLUVANNYUMA lw’omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu okulangirira nga bw’afulumye eggwanga okumala ekiseera ekitali kigere, wazzeewo obweraliikirivu mu bawagizi b’ekibiina ku kye bazzaako.
Kyagulanyi yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X (eyali twitter) ku Lwomukaaga n’ategeeza nga bwe yabadde afulumye eggwanga asobole okusisinkana ab’emikago n’abanywanyi abalala mu wiiki ze yayise entono.

Ssentamu ne Zedriga mu kunoonya akalulu
Yalangiridde omumyuka we atwala obukiikakkono, Dr. Lina Zedriga okugira ng’akola nga Pulezidenti w’ekibiina ekiseera ky’anaamala nga taliiwo.
“Oluvannyuma lw’okumaliriza emirimu egintutte ebweru w’eggwanga, nja kukomawo mu Uganda, olwo Gavumenti ekole ky’eyagala okunkola ng’ensi yonna eraba, kuba nkimanyi sirina musango gwe nazza okwesimba ku Bwapulezidenti,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Kyagulanyi yeebazizza Bannayuganda n’abaserikale abamubeereddewo bwe baabalagira okumukwata ne batakikola, wabula ne bamuwa amawulire agamuyambye okwongera okwekukuma okumala emyezi ebiri.
Ekyamuggye mu ggwanga yagambye nti, yayagadde kukuuma bulamu bwe kuba mu bbanga ery’emyezi ebiri, Gavumenti yasalako amaka ge n’egawamba n’aga mikwano gye, bataddewo emisanvu mu makubo mwe bakeberera ebidduka, bakutte n’okugoba abaserikale abaali bamukuuma mu kampeyini.
Wadde nga Kyagulanyi agamba nti, bamunoonya, kyokka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yategeezezza nti, tewali amunoonya nga n’abaserikale okubeera mu maka ge bakikola lwa kumuwa bukuumi n’ebintu bye okutuusa lw’anadda.
Omumyuka wa Pulezidenti wa NUP atwala Obuvanjuba, John Baptist Nambeshe yagambye nti, Kyagulanyi okubulawo tekirina kutwalibwa nti, yeekwese wabula agezaako kwewala kukwatibwa n’okutuusibwako obulabe.
Nambeshe yagambye nti, Kyagulanyi ekyamuggya mu maka ge, yamala kulaba ng’amagye gayitiridde ewuwe n’asalawo okubeetegula.
Ekiseera ky’anaamala nga taliiwo yagambye nti, tekijja kuyimiriza lutalo lwe baliko olw’okununula eggwanga kuba wadde taliiwo naye awuliziganya bulungi n’abakulembeze b’ekibiina era abalung’amya ku by’okukola.
Ekirungi n’eggwanga lyennyini aliweereza obubaka ng’ayita ku mitimbagano n’abawa obubaka obubazzaamu amaanyi. Emiramwa gya NUP yagambye migazi okusinga omuntu ssekinnoomu era bakkiriza nti, bajja kusigala nga batambuza emirimu wadde ng’omukulembeze waabwe taliiwo.
“Ebigendererwa byaffe tebikoma ku kulonda kwokka, era tujja kusigala nga tulwanirira okutuuka ku kigendererwa kyaffe nga tweyambisa amakubo gonna ag’emirembe.
Pulezidenti Museveni yalangirirwa ku buwanguzi mu kulonda kwa January 15 ku bululu 7,946,772 (ebitundu 71.65 ku 100) ate Kyagulanyi eyamuddirira n’afuna 2,741,238 (ebitundu 24.72 ku 100.)