Amawulire

Bobiwine akyagaanyi okukolagana naffe okuzuula ebyamutuukako – Poliisi

Kyagulanyi yatuusibwako ebisago abawagizi be mu kusooka kye baayita okumukuba essasi kyokka kino poliisi n'ekisambajja era ne baggulawo okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyaliwo.

Bobiwine akyagaanyi okukolagana naffe okuzuula ebyamutuukako – Poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi egambye nti omukulembeze w'ekibiina kya  NUP Robert Kyagulanyi Sentamu , akyagaanyi  okukolagana nabo mu kunoonyereza okuzuula ebyamutuukako.

Kyagulanyi yatuusibwako ebisago abawagizi be mu kusooka kye baayita okumukuba essasi kyokka kino poliisi n'ekisambajja era ne baggulawo okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyaliwo.

Okuva olwo, poliisi ebadde mu kunoonyereza era nga waliwo ttiimu eyasindikiddwa ewa Kyagulanyi nti kyokka n'atabawa budde ng’agamba nti tabeesiga.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti bwe banaafuna sitatiment ye , bajja kubaako we batandikira.

Tags:
Poliisi
Bobi wine
Amawulire
NUP Robert Kyagulanyi Sentamu