NAMUKADDE alajaana lwa babbulooka abamutwalako ekibanja kye mu lukujjukujju ate okutandika okukwata abaana be nebabaggalira ku poliisi e Wakiso ssaako okusindika abaserikale b’emmundu ewuwe mubudde bw’ekiro.
Safina Nabisubi nga mutuuze ku kyalo Luggi mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka e Wakiso yali mu kusattira olwa ba bbulooka abakulemberwa Ramadhan Byarubasika abamufukidde ekizibu ku kibanja kye.
Nabisubi agamba nti ekibanja kye kiwezaako yiika 11 ng’akibadde emyaka egisoba mu 70 ng’ekibanja kino kyali kya bba omugenzi Edward Kasolo nga kwe yamuwasiza, kyokka yewunya okulaba ng’ate babbulooka bamugobaganyako.

Aba famire nga bali ne mukadde
“Ku kibanja kuno kwempangalidde ebbanga era kwetulimira emmere gyetulya n’abaana ssaako abazzukulu bange, naye nnewunya ate Byarubasika okukozesa eryanyi ly’emmundu nga nze gwayita ate omufere ku kibanja kyenzaliddeko abaana bange.” Nabisubi bweyayongeddeko.
Nabisubi yategezezza nti ensonga ze zaatuka ewa Pulezidenti era nasindika omuyambi we kunsonga ez’enjawulo, Phiona Barungi eyawa ebiragiro ebya Byarubasika obutaddamu kwewangamya ku kibanja.
Kyokka yewunyizza nti wadde ye (Nabisubi) yasiba akatimba ku kibanja kye, Byarubasika yakyusizza ssuula ya kutandika kukwata baluganda lwe ng’abatekako ebisango eby’enjawulo.
Annet Nanteza nga muwala wa Nabisubu, yategezezza nti kyewunyisa okuba nga Byarubasika teyateeka kitiibwa munsalawo ya Barungi, kuba ensonga zaakolebwako okunonyereza mu maka g’obwa Pulezidenti nebakizuula nti nnyina Nabisubi yenannyini kibanja.

Omukadde ng'alaga ettaka
“Twewunya nti kati Byarubasika yatandise okukwata abantu baffe nga yasooe kureeta bamagye ne poliisi ye Wakiso nebakwata mwannyinaze Edward Kigozi ppaka mu kkooti ne Wakiso nga bagamba nti asalimbira ku kibanja ekitali kikye.” Nanteza bweyayongeddeko.
Byarubasika Annyonnyodde;
Bbulooka Byarubasika yagambye nti mu February wa 2025, Kigozi yagenda nakuula ebikondo ku kibanja ye (Byarubasika) kyayita ekikye. Ono nti yaddukira ku poliisi e Wakiso naggulawo omusango era poliisi netandika okukola sitatimenti kubantu ab’enjawulo.
“Nze sirina gwentiisatiisa era ngoberera mateeka ga fayiro kuba ne Kigozi yakola sitatimenti era fayiro negenda ew’omuwaabi wa Gavumenti kwe kwavudde okumukwata natwalibwa mumbuga.” Byarubasika bweyayongeddeko.
Yagambye nti ebugambibwa nti Barungi yabaddiza ekibanja kye, abiwakanya kuba ekisooka Barungi nti tagaba ttaka ate nebweyagamba nti abaddizza ekibanja kyabwe, tewali nti kiwandiiko kye yareeta okureka okwogera obwogezi.