PALAMENTI ekubyeko abayimbi bw’ebadde eyisa etteeka lya copyright and neighboring amendment bill 2025 eribawa enkizo okufuna mu biyiiye byabwe.
Ebbago ly’etteeka lino liragira emikutu gy’amawulire n’abanaazannya ebiyiiye bya Bannabitone okubisasula ssinga babikozesa.

Willy Mukaabya ng'annyonnyola
Buli munnakitone kimukakatako okwewandiisa n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa ebiyiiye ne bizinensi (URBS) okumanyibwa n’okufuna mu biyiiye byabwe.
Omuwendo gwa ssente gwe bajja okufuna buli luyimba bwe lunaazannyibwa , palamenti etegeezezza nti zaakugerekebwa akulira URBS wamu ne minisita w’ebyamateeka n’essiga eddamuzi.

SheebaH Karungi N'abayimbi Abalala Nga Bafuluma Palamenti
Baasiimye palamenti olw’okuwuliriza okusaba kwabwe ne bategeeza nti kati obwavu bandiba nga batandise okubufuuwa mu ngombe nti kubanga babadde tebamanyi bwe bayinza kufuna mu maanyi gaabwe.