Amawulire

Sheikh Ishak Mutengu avumiridde obubbi obususse mu ggwanga

Sheikh Ishak Mutengu avumiridde obubbi obususse mu ggwanga

Mufti Galabuzi ku kkono, Jjajja w'Obusiraamu Omulangira Nakibinge wakati ne Twaha Kaweese
By: Nsimbi Ponsiano, Journalists @New Vision

OKUSALA Eid Elftr ku muzikiti e Kibuli kukulembeddwamu Sheik Ishak Mutengu  eyavumiridde  obubbi obususse mu ggwanga nga wano anokoddeyo  Bannabyabufuzi ababba obululu bwa bannabbwe mu mu kulonda okuwedde n'abawa amagezi okuddiza bannabwe  obuwanguzi bwabwe.
Mutengu atabukidde abasirikale abasusse okutulugunya abantu abatalina musango nabasaba okukola emirimu gyabwe nga bagoberera amateeka.

Hajji Kawaase ku kkono, Mufti Galabuzi wakati ne Jjajja w'Obusiraamu omulangira Nakibinge

Hajji Kawaase ku kkono, Mufti Galabuzi wakati ne Jjajja w'Obusiraamu omulangira Nakibinge


Jjajja w’obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge yasinzidde mu maka g’e Kibuliku mukolo ogw’okusibulula abasiraamu n’akungu bannaddiini n’abakulembeze b’ensikiraano okukomya okusirika ng’eddembe lya bannayuganda naddala abakwatiibwa mu biseera by’okulonda ligenda mu maaso n’okutyobolwa.
Asabye Pulezidenti Museveni okusonyiwa abasibe bonna abakwatiibwa olw’eby’obufuzi amabaze mu makkomera emyaka egisoba mu etaano basobole okuddamu okutabagana n’abantu baabwe.
Ono era asabye abalina emisango batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe okusinga okubakumira mu makkomera.
Asasidde famiire z’abantu omusanvu abafiira mu kalulu mu maka gw’omubaka wa Butambala Muhammada Muwanga Kivumbi nasaba omuwabi wa gavumenti okuteeka omuduumizi wa poliisi kuninga aveeyo anyonnyole lwaki yalemwa okukwata abakuba abantu bano amasasi nasalawo okukwata omubaka Kivumbi ali mu kaddukulu mu kiseera kino.

Omubaka wa Makinndye west Zahara Luyirika ne munne mu kusaala Eid e Kibuli

Omubaka wa Makinndye west Zahara Luyirika ne munne mu kusaala Eid e Kibuli


Mungeri y’emu ono asabye bannayuganda okusabira amawanga agali muntalo okuli Ukraine,Sudan,Iran n’agali mu kyondo kya Buwarabu era nasaasira abasuubuzi abafiirwa ebintu byabwe mu mataba mu Kampala gye buvuddeko nasaba gavumenti okutuukirizza ekisuubizo ky’okubnaliyirira era n’okunoogera ekizibu kino amagezi ag’enkomeredde.
Supreme Mufti sheik Muhammad Shaban Galabuzi avumiridde ekikolwa eky’okumenya emiddala gy’abasuubuzi mu katale kw’owino n’okubononera ebintu byabwe.
Obwakabaka bwakikiridde omumyuka wa katikkiro asooka Hajji Pol.Twaha Kigongo Kaawaase eyasomye obubaka bwa Kabaka.

Okusaala Eid e Kibuli

Okusaala Eid e Kibuli


Okusala Eid kwetabiddwako abakulembeze ku mitenderaegy’enjawulo okubadde  loodi mmeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago,minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda,akulira abakyala mu Uganda Hajjat Faridah Kibowa,ababaka ba palamenti okuli Hajji Ali Kasirye Mulyanyama ,Hajji Abubaker Kawalya,Hajji Ibrahim Ssemujju Nganda,Zahara Luyirika,Hannifa Nabukera n’abalala.
Oluvannyuma omulangira Nakibinge asibuludde abasiraamu mu maka g’e Kibuli.