Amawulire

Sheikh Yasin Sekikubo asoomoozezza Abasiraamu abalina ensaalwa ku bannaabwe

sheikh Yasin Sekikubo asoomoozezza Abasiraamu abalina ensaalwa ku bannaabwe

sheikh Yasin Sekikubo ng'akulembeddemu okusaala Eid e Nansana
By: Kiragga Steven, Journalists @New Vision

Okusaala Eid ku muzikiti gwa Masjid Hussein e Nansana kukulembeddwamu sheikh Yasin

Ssekikubo nga ono asabye abasiraamu okukomya okukengentelwa emmeeme olwa bannaabwe abaliko ebirungi byebafunye wabula basabe katonda era bakole obuteebalirwa mu kifo kyokwogerera bannabwe ebisongovu.

Okusaala Eid e Nansana

Okusaala Eid e Nansana

Sheikh.Ssekikubo era yalabudde abakyala okukomya okutinkiza ne mikwano  ne batuuka n'okubaleeta buli kadde ewaka ekiviriddeko bangi nokufirwa obufumbo nga bannabwe babubatutteko .

Ye Imam wa masjid Hussein Sheikh Sulaiman Sseguya wano weyasabidde abazadde okutekawo enkolagana enuungi na baana babwe mu kifo kyokubateeka kuniinga no bukambwe oluusi ekiviriddeko abaana okwenyamira abamu ne batuuka nokwetta.

Okusaala Eid e Nansana

Okusaala Eid e Nansana

Wano atwala poliisi n’omuntu wa bulijjo e Nansana ASP Ssebuliba Muhammad walabulidde abantu naddala abaana abawala okwewala okutambula ekiro kuba kiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Ssebuliba akinoganyiza nga ebikwekweto bwebikyagenda mu maaso okufuuza abamenyi ba mateeka awatali kutira muntu yenna kuliiso.