Abatwaala essomero lya gavumenti erya St.Joseph primary e Nansana bafunye essuubi ly'okumalawo endwadde eziva ku bucaafu oluvanyuma lwa ba Rotary ye Nansana okubazimbira incinerator mwebagenda okwokyera pad ezibeera zikozesebwa abawala abali munsonga.
Bano nga bakulembeddwamu akulira essomero lino Margret Nabakooza bagamba nti baludde nga bafuna okusomozebwa kwe kifo webakungaanyiza n'okwokyera pad ezibeera zikozesebwa abaana abawala wamu na basomesa abakyala nga n'oluusi zibadde zimansibwa mungeri etasanidde ekibadde kiteeka ebyobulamu mu matigga.

Nabakooza Margret akulira essomero ng'annyonnyola ebimu ku bibasoomooza
Nabakooza eyabadde omusanyufu yasiimye nnyo aba Rotary olw'okubajuna neyeyama okufuba okulaba nga banyikizza ebyobuyonjo nawanjagira abazira kisa abalala okwongera okuddukiriira essomero lino.
Yagasseeko nti ekifo kino kyakwongera okuyamba abayizi wamu na bakristu ababadde bamansa pampa za baana buli webasanze nga bazze okusaba.

Nabakooza Margret akulira essomero ng'annyonnyola ebimu ku bibasoomooza
Wano pulezidenti wa Rotary ye Nansana Fred Mukasa eyakulembeddemu kaweefube wokukwasa essomero ebintu bino ategezezza nga okuddukirira essomero bwekigendereddwa okwongera okutumbula ebyobulamu nokukuumira abaana abawala mu ssomero kuba abamu bwebagenda munsonga nga tewari bikozesebwa basalawo kusigala waka ne balemwa okusoma na bamu okulekera ddala okusoma.

Abayizi be St Jospeeh Nansana nga baaniriza abagenyi