Abatuuze ababadde abanyiivu bakkakkanye ku basajja babiri ne babakuba ne babatta olw'ebigambibwa nti babasanze basalaasala ebifi by'ennyama ku mulambo gwa munnaabwe abadde amaze ennaku ng'abuziddwawo.
Kigambibwa nti mu muyiggo gwe baakoze mu nnyumba y'abasajja bano, era baasanze ennyama y'omugenzi endala ng'eri mu sseppiki nga bategeka kugifumba.

Nnyumba gye baakozeeko ekikwekweto
Ekikolwa kino ekyentiisa, kibadde ku kyalo Kiryanongo mu ggombolola y'e Bananywa mu disitulikiti y'e Kyankwanzi, abatuuze bwe basse Hakiza Damaseni ne munne Ssemasaka nga bombi Banyarwanda.
Okubatta, kiddiridde okubuzibwawo kw'omuwala neekoleragyange Vensi abadde omutuuze ku kyalo Nakabugo mu ggombolola y'emu era abatuuze ne batandika omuyiggo okumala ennaku nga ssatu.
Kitegeezeddwa nti omu ku muliraanwa w'abasajja bano, yasoose okuwulira ekivundu nga kiva mu nnyumba, kwe kutemya ku batuuze ne bakola omuyiggo ne basanga omulambo gw'omuwala ogubadde gutandise okuvunda, nga gusaliddwako ebifi bagupakidde mu kutiya.
Bayise ssentebe wa LC1 ku kyalo ekyo era naye n'ayita poliisi nti kyokka w'etuukidde, ng'ababiri bamaze okubatta ne babakumako n'omuliro.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti emirambo gyonna esatu, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Ntwetwe Health Center 4 ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.