Amawulire

Mmotoka ssatu zeetomodde e Luweero abantu 3 ne bafiirawo!!

ABANTU basatu bafiiriddewo n'abalala munaana bapooca na bisago oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje ku kyalo Nkondo mu ggombolola y'e Nyimbwa mu Luweero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Mmotoka ssatu zeetomodde e Luweero abantu 3 ne bafiirawo!!
By: Samuel Kanyike, Journalists @New Vision

ABANTU basatu bafiiriddewo n'abalala munaana bapooca na bisago oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje ku kyalo Nkondo mu ggombolola y'e Nyimbwa mu Luweero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Kino kyaddiridde ebidduka mwe babadde batambulira omuli ttakisi UBR 333 S ne loole ekika kya Tata UBG 873K okwambalagana.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti abaafudde bonsatule basajja ng'amannya gaabwe tegannategeerekeka nga baabadde mu mmotoka UBR 333S nga baabadde bava Kampala okudda Amoratar.

Twineamazima ategeezezza nti akabenje kaavudde ku loole eyabadde etisse ebikondo eyabadde eva e Luweero okudda e Kampala okugezaako okuyisa oluseregende lw'ebidduka ku kyalo Nkondo e Kalule okumpi ne Bombo n'eyambalagana ne ttakisi.

Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika e Kasana ate abaalumiziddwa ne batwalibwa e Mulago ne Kasana okujjanjabwa.

Tags:
Nkondo
Bisago
Kampala
Gulu
Tata UBG 873K