Amawulire

Kitalo! Naggagga Aga Khan afudde ku myaka 88

NAGGAGGA era omukulembeze w’Omwoyo ow’Abasiraamu ab’enzikiriza ya Ismaili, Aga Khan afudde ku myaka 88.

Kitalo! Naggagga Aga Khan afudde ku myaka 88
By: Willy Ssemmanda, Journalists @New Vision

NAGGAGGA era omukulembeze w’Omwoyo ow’Abasiraamu ab’enzikiriza ya Ismaili, Aga Khan afudde ku myaka 88.

Omulangira Karim Aga Khan IV afiiridde mu kibuga kya Portugal ekikulu Lisbon nga era y’abadde Aga Khan owa 49 mu bukulu buno obw’ensikirano ab’enzikiriza eyo bwe bagamba nti butambulira mu lunyiriri lwa Nabbi Muhammad omukulu ennyo mu nzikiriza y’Obusiraamu.

Omugenzi Aga Khan Iv bw'abadde afaanana.

Omugenzi Aga Khan Iv bw'abadde afaanana.

Binnyonkondo ono eyatuuzibwa ku bukulu buno ku myaka 15 abadde n’obugagga obutalina alina okwetooloola ensi yonna omuli amalwaliro, amatendekero, amasomero, wooteeri, n’ebyobugagga ebirala bingi.

Ebyobugagga bye mu Uganda

Ye yakola ebbibiro ly’amasannyalaze erya Bujagali, nannyini bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB), Jubilee Insurance Group, emikutu gy’amawulire egya Daily Monitor, NTV, Kampala Pharmaceutical Industries (KPI), Yunivaasite ya Aga Khan mu Kampala, essomero lya Aga Khan mu Kampala n’ebirala bingi.

Abasiraamu aba Ismaili abasukka mu bukadde 20 nga basinga kusangibwa Pakistan, Buyindi, Afghanistan ne mu Africa.

Yazaalibwa nga December 13, 1936 mu kibuga Geneva ekya Switzerland era ye yaakasinga okulwa ku bukulu buno kw’abadde emyaka 67 ng’okujja ku bukulu buno yasikira jjajja we  Mawlana Sultan Mahomed Shah, mu 1957.

Tags:
Agha Khan
Kitalo
Mawulire
Kufa
Myaka