Bya Paul Galiwango
BANNAMAGOYE basabye gavumenti okwongera okubateerawo ebifo we bayinza okufunira obujjanjabi obw’amangu mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga.
Baabadde mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa ekibiina ky’obwannakyewa ekya Albinism Umbrella nga bali wamu ne Agha Khan Foundation ne European
Union ku Uganda Musuem e Kitante mu Kampala.
Olivia Namutebi, akulira ekibiina kya Albinism Umbrella ekirwanirira okutumbula embeera ya Bannamagoye yategeezezza nga bwe bakozesa okunoonyereza ne bakizuula nga bannamagoye bakyasanga obuzibu bw’okusosolebwa mu malwaliro nga n’abamu kibazibuwalira okufuna obujjanjabi olw’ebbula ly’ensimbi.
Galubindi n’ebizigo ebyesiigibwa ku mubiri naddala mu biseera by’omusana kye kimu ku bizibu bye basinga okusanga naddala ababeera bakyasoma.
Abantu 300 be baafunye obujjanjabi bw’amaaso, ensusu n’okukeberebwa akawuka
ka siriimu ne baweebwa ebizigo by’olususu, galubindi n’enkoofiira ezibayamba ku musana.