Bannamagoye wonna mu ggwanga basabiddwa okwettanira okwekebeza naddala endwadde za amaaso nga abaana bato kibayambe okukendeeza ku bungi bwa bamuzibe mu bannnamagoye
Bano nga bakulembeddemu Olive Namutebi akuliira Albinism Umbrella bagamba nti bannamagoye bangi basosolwa bwebabeera bagenze okufuna obujjanjabi obwenjawulo mu malwaliiro bwatyo n'akowoola banne okwetanira ensisiira z'ebyobulamu zebakuba okufuna obujjanjabi.

Namagoye
Bano basinzidde ku ddwaliiro lya Wakiso Health center iv ewakubiddwa olusisiira lwebyobulamu okutuusa obujjanjabi omuli okwekebezza akawuka ka siriimu,okukeberwa amaaso ne birala.
Namutebi agamba nti abantu bangi bakyalina endowooza embi eri bannamagoye ekiviriddeko n'abamu okukakibwa omukwano nga wano bafuna obulwadde bwa siriimu kyokka bwebagenda mu malwaliiro okuyambibwa ate basosolwa.

Namagoye 3
Romano Ssembajjwe okuva mu kitongole Kya Aghakan Foundation ekyakulembeddemu kaweefube w'okutuusa obujjanjabi buno eri bannamagoye agamba nti abantu balina okukyuusa endowooza yaabwe era bakwatizeeko bannamagoye okubeera mu bulamu obweyagaza.
Dr.Joseph Ssebwana okuva mu ddwaliiro e Mengo wano wasabidde abazadde okufaayo okutwala abaana abalina obuzibu buno okukeberwa amaaso bafune obuyambi.