Omuwendo gw'abantu abafiiridde mu nnyanja Nnalubaale oluvannyuma lw'eryato mwe babadde batambulira okubbira, gulinnye ne bawera 6.
Akabenje kano, kabadde ku mwalo gw'e Bugoto mu ggombolola y'e Bukabooli e Mayuge, eryato mwe babadde batambulira bwe lyebbise mu mazzi ku ssaawa 12:00 olweggulo kyokka poliisi n'abantu baabulijjo ne bawonyaako Munaana.
Abafudde, kuliko Zalika Naiwumbwe, Badiru Gabunga, Faruk Mudoli, Awori Kisakye, Blessing Nabuzaale ne Rebecca
Ate abaataasiddwa enjega eno, kuliko Bosco Tibita, Robert Waiswa, Jamira Nadobya, Janet Namwebya, Nabirye Kamyufu, Moses Kapere n'abalala babiri abatannamanyika bibakwatako.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti eryato lyabaddeko abantu 14 ne bataasaako 8 era ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Kigandalo Health center 4 okufuna obujjanjabi ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.