Amawulire

Abasawo b'ekinnansi begaanyi eby'okusaddaaka abaana

ABASAWO b’ekinnansi mu ggwanga bavuddeyo ne bawakanya ebiboogerwaako nti basadaaka abaana nebagamba nti omuze guno si bebagukola wabula gukolebwa bannabwe abava mu mawanga amalala naddala Tanzania.

Abasawo b'ekinnansi begaanyi eby'okusaddaaka abaana
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalists @New Vision

ABASAWO b’ekinnansi mu ggwanga bavuddeyo ne bawakanya ebiboogerwaako nti basadaaka abaana nebagamba nti omuze guno si bebagukola wabula gukolebwa bannabwe abava mu mawanga amalala naddala Tanzania.

Hit 2(9)

Hit 2(9)

Bino byoegeddwa okulira enzikiriza y’obuwangwa n’ennono mu ggwanga Ssaalongo Mukasa Mutyaba okuva e Kawolo mu Buikwe n’agamba nti okuva eddanga ng’abasawo b’ekinnansi bakola emirimu gyabwe wabula ng’ebikolwa by’okusadaaka tebiriiwo okutuuka lw’ebegattibwaamu abava e Tanzania nga bano beebaaleta emize egisadaaka kuno nga bwebaasadaakanga bannamagoye ewabwe.

Hit 9(3)

Hit 9(3)

Bano baasabye gavumenti erekere awo okukkiriza abantu abava e Tanzania nga beeyita abasawo b’ekinansi okukolera kuno nga kono bwebanaakikola omulimu gwabwe gujja kutereera ate n’eggwanga lisobobole okutebenkera.

Mutyaba okwongera bino abadde asisinkanye abantu abakkiririza mu nzikiriza y’obuwangwa n’enono yabwo ku mukolo gwebaaniririzaako omwaka omupya ate n’okwekulisa omukadde ogwaali gujjudde okusoomozebwa okungi naddala okwa corona.

Hit 9(3)

Hit 9(3)

Bano era baasinzidde wano nebakukkulumira Mengo okuba nga tebafuddeeko mu kubasembeza ate nga bebali mu nsiza yennyini eya bajjajja bwe olwo abe Mengo nebadda mu kutetera n’amadiini agaaletebwa  abazungu kyebagamba nti kikyamu nga Mengo erina kusooka kusembeza bbo nga tenakolagana na madiini ge bweru.

Ssaabakabona Luganga Kazibwe yakubiriza abasawo b’ekinnansi wamu n’abagoberera enzikiriza y’obutonde  okufuba okukola emirimu egivaamu ensimbi bwebatyo basobole okuva mu bwavu. Ono era yabakuutidde okufuba okuzza abaana ku masomero ate n’okubawerera kubanga ekyo kyekijja okubbulula omulimu gwabwe