ABASUUBUZI b'omu Kampala basiibuludde Abasiraamu abaliko obulemu ne babalabula ku kukomya okweyisa nga ekitagasa kubanga kiswaza eddiini y’Obusiraamu n’okuwewula Allah gwebasinza.
Bano nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Nabugabo Swadaka basinzidde ku kitebe kyabwe ekisangibwa ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa mu Kampala ne badduukirira Abasiraamu n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okubadde ssabbuuni, omuceere , butto , ssabbuuni, emigaati , obuwunga n’ebirala kw’ossa n’okubagabula ekijjulo ky’okusiibulukuka.
Abasuubuzi bano nga bakulembeddwamu Hajji Zubair Kasule omwogezi w’ekibiina ekibagatta bategeezezza nga bwe baakizuula nga abantu abaliko obulemu balekebwa bbali mu ntekateeka z’okwekulaakulanya ezisinga nabo kwekusalawo okubaduukirira bamaleko bulungi ekisiibo.

Abaliko obulemu abaafunye eby'okusiibulukukirako
Hajji Kasule ategezezza nti oluvannyuma lw’okukizuula nti abantu bangi balina obwetavu naye nga tebafiiriddwako kwekusitukiramu okubakumakuma babasobozese okukikkiriza nti nabo bantu nga abalala bonna.
Ategezezza nga abantu bano okuli ba muzibe ne bannamagoye bwebayita mu mbeera enzibu okugeza nga okuboolebwa nga n’oluusi abantu abamu tebaagala kubawa mirimu kukola nga newankubadde bandigisobodde nga kino kibaleka mu mbeera ey’obwavu obuyitiridde.

Asabye abantu abalina obusobozi okwekuba mu kifuba bafumiitirize ku mbeera abantu bano abaliko obulemu gye bawangaaliramu basinziire okwo babadduukirire kubanga ekikolwa ekyo Allah ky’asinga okwagala.
Kyokka asabye abantu abaliko obulemu okukomya okwenyigira mu mize emikyamu omuli n’okukozesebwa abamenyi b’amateeka ky’agamba nti kino kibeera kivumaganya abo abeeyisa obulungi.
Hajji Adam Ssenjala omu ku badayirekita b’ekibiina kino asabye abantu bonna abaliko obulemu obutakifuula kkubo mwe balina kuyita okusabiriza kubanga buli lwe bakikola babeera nga abeevuma n’okunenya Katonda eyabatonda mu mbeera bw’etyo.

Abamu ku baliko obulemu abafunye ku bintu bino nga bakulembeddwamu Akram Ntanzi basiimye nnyo aba Nabugabo Swadaka okuvaayo ne babadduukirira kubanga embeera mwe bawangaalira mbi nnyo era teyeeyagaza.
Ntanzi awadde eky’okulabirako eky’abantu abanyigirizibwa embeera kyokka nga balaba bulungi n’ategeeza nti ate olwo bo abatalaba.
Asabye n’abantu abalala okulabira ku kikolwa kino nabo babadduuklirire basobole okubeera mu bulamu obweyagaza nga abantu abalala bonna.
Oluvannyuma baafunye okubuulirira okuva ewa Sheikh Osman Galiwango nga ono yabakuutidde okwongera okwagala ennyo Allah kubanga y’abavunaanyizibwako kw’ossa n’okubatemera amakubo ku ngeri gye babeerawo.