Amawulire

Poliisi etaayizza akabinja k'abeebijambiya abanyaga abantu ne bakubako omu amasasi agamutiddewo

 Bino byabaddewo ku ssaawa 7:00 ogw’ekiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga akabinja k’ababbi abeebijambiya bwe baateeze mmotoka ku bitaala bya Jinja Road okumpi n’awaali ofiisi z’akakiiko k’ebyokolonda ne balagira ddereeva aggulewo  nga bwe bagaludde amajambiya.

Poliisi etaayizza akabinja k'abeebijambiya abanyaga abantu ne bakubako omu amasasi agamutiddewo
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABASERIKALE bataayizza akabinja ka babbi abakozesa ebijambiya okunyaga abantu ne bakubako omu amasasi agamutiddewo abalala ne baddukira mu mwala okuwona ekibabu.

 

 Bino byabaddewo ku ssaawa 7:00 ogw’ekiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga akabinja k’ababbi abeebijambiya bwe baateeze mmotoka ku bitaala bya Jinja Road okumpi n’awaali ofiisi z’akakiiko k’ebyokolonda ne balagira ddereeva aggulewo  nga bwe bagaludde amajambiya.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano, Racheal Kawala yagambye nti ddereeva wa mmotoka namba UA 512CP bwe yabadde mu kalippagano yalabye abavubuka nga bamusongamu ejjambiya nga bamulagira okuggulawo wabula n’agaana nayongera okwesibiramu.

 

Yagambye ababbi bano bwe baalabye nga ddereeva agaanyi okuggula enzigia basazeewo okubaako ekintu kye bakwakkula ku mmotoka  nga kino kyavuddeko abantu abaalabye ebigenda mu maaso okukuba endulu eyatemezza ku baserikale b’oku poliisi y’oku bitaala bya Jinja Road  ne babataayiza kuba baategedde abavubuka bano nti baddukidde mu mwala gwa Nakivubo kuba buli lwe babba gye baddukira.

 

Yategeezezza nti mu kutaayiza abaserikale baalengedde abavubuka abambadde engoye enzirugavu nga baddukira mu mwala okudda ku ludda lwa Lufula ne babalagira okuyimirira ne bagaana ekyavuddeko omu ku bavubuka okuggyirayo abaserikale ejjambiya.

 

Embeera eno yavuddeko abaserikale okukuba amasasi mu bbanga nga akabonero akalabula kyokka eyabadde akutte ejambiya ne yeerema okugissa wansi n’ayongera okusemberera abaserikale  nabo ne bamukuba amasasi agaamutiddewo banne ne badduka okweyongerayo mu mwala.

 

Yagambye nti omulambo gw’eyakubiddwa  amasasi bagusanzeeko n’ekyuma ekyabadde kibbiddwa ku mmotoka era nga bano be bamu ku kabinja akaabadde kabbira mu bulippagamoganano néubiraala nadala ku Jinja Road.

 

Yagasseeko nti poliisi yaakugenda mu maaso ng’erawuna ekitundu kino okusobola okulaba ng’obubbi obw’ekika kino bukendeera wamu n’okukwata obubinja bonna bubwenyigiramu.

 

Omulambo poliisi yagututte mu ggwanika e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kabinja
Babbi
Kutaayiza
Kunyaga