Bya Wilson W. Ssemmanda
ABASAJJA basatu mu ggwanga lya Malawi kkooti yaayo enkulu ebakalize ekibonerezo kya myaka 155 nga bali mu nkomyo olw'okutta omuntu ow'ekikula kya nnamagoye.
Bano mu myaka 44, 45 ne 71, baasingisiddwa omusango guno oluvannyuma lw'okukkiriza nga tebeetemyemu nti be batta omuvubuka ow'emyaka 23 mu January w'omwaka guno.
Mu myaka 10 egiyise, eggwanga lya Malawi libaddemu obulumbaganyi eri bannamagoye olw'endowooza nti okukozesa omusaayi gwabwe n'ebimu ku bitundu by'emibiri gyabwe bireeta obugagga n'emikisa.
Kigambibwa nti bannamagoye abasukka mu 170 be battiddwa mu ggwanga eryo okuva mu 2014, n'emisango egyekuusa ku kugezaako okuwamba bannamagoye.
Ensala ya kkooti eno ey'ekibonerezo eky'emyaka 155 bubaka okuva eri essiga eddamuzi eri bannansi nti obulumbaganyi eri bannamagoye tebukkirizibwa.