ABASAJJA abaalumba ekibanda kya ssente e Lubaga ne batta omukuumi basibiddwa mayisa.
Abasibiddwa kuliko; Hussein Ssebuma ng’oluusi yeeyita Obote 26, ng’abeera Kawaala mu Lubaga ne Sulaiman Jjuuko eyeeyita Golola 42 ow’e Kasubi Zooni 11 e Lubaga. Baavunaanibwa wamu ne David Ddumba atikka enku ng’abeera Kasubi Zooni 111,
Oman Aula eyeeyita Aula Kasaija ssaako Edison Mpasweimana eyeeyita Mugisha nga babadde bavunaanibwa obwakkondo n’obutemu.
Emisango abawawaabirwa baagikkiriza nga bwe gyabasomerwa mu kkooti y’amagye
etuula e Makindye.
Ssentebe wa kkooti y’amagye, Brig. Gen Freeman bwe yabadde abasiba yagambye nti emisango gye bazza gya nnaggomola era emisango bwegiti mu ggwanga gyeyongedde ng’okuwa ebibonerezo ebikakali kye kimu ku biyinza okuyambako okukendeeza
emisango gino.
Mugabe yagambye nti abatemu bano beetaaga ekibonerezo ekinaawa eky’okulabirako eri abalala abandizzizza emisango egyefaanaanyiriza gino.
Bwe yabadde abawa ekibonerezo, kkooti yabaliddeko emyezi omukaaga gye bamaze mu
kkomera, n’abagamba nti baddembe okujulira mu nnaku 14 ssinga baba tebamatidde n’ensala ya kkooti.
Abawawaabirwa era babadde bavunaanibwa wamu n’omukozi wa KCCA Morin Peace Nabukeera ng’ono muganzi wa Aula ssaako omujaasi wa UPDF Pte. Musa Gabala
kyokka bo emisango baagyegaana.
Abawawaabirwa nga March 19,2024 nga balina emmundu SMG 48015840 eya UPDF baalumba ekibanda kya ssente ekya Banxell Forex Bearual ku Kabuusu mu munisipaali y’e Lubaga ne batta omukuumi Peter Agama eyali akuuma ekifo ekyo. Agama
yakubwa amasasi 3 agaamuttirawo. Agama yali akola ne kkampuni ya Wolves
Security company ng’alina emmundu SAR -UG PSO 54000868124 era abatemu ne
bakuuliita nayo ng’erimu amasasi mwenda.
Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti mu kunoonyereza kyazuulibwa nti Nabukeera, Ssebuuma ne Ddumba be baaluka ddiiru ate Aula ye yafulumya essasi
eryata Agama nga bakozesa emmundu gye baapangisa ku Gabala.
Kati fayiro esigaddeko ofiisa wa KCCA Nabukeera n’omujaasi Gabala era oludda
oluwaabi lwategeezezza nti beetegefu okuleeta obujulizi