Amawulire

Katikkiro Mayiga atongozza enteekateeka y'okuzimba ekifo ky'obulwadde bwa nnalubiri

ATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongoza enteekateeka omugenda okuyitwa okusonda ssente okuzimba ekifo awagenda okukyusizza obusomyo bw'abantu abatawanyizibwa obulwadde bwa Nnalubiri, bafune obulamu obuggya. 

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

ATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongoza enteekateeka omugenda okuyitwa okusonda ssente okuzimba ekifo awagenda okukyusizza obusomyo bw'abantu abatawanyizibwa obulwadde bwa Nnalubiri, bafune obulamu obuggya. 

Omukolo guno gubadde ku mbuga y'Obwakabaka enkulu e Bulange-Mmengo era Katikkiro Mayiga n'akunga abantu okuwagira enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula eby'obulamu mu Buganda ne Uganda.

Ekifo kino kigenda kubeera ku kitongole kya gavumenti ekinoonyereza ku bulwadde bwa mukenenya ekya Joint Clinical Research Centre (JCRC) e Lubowa mu disitulikiti ye Wakiso. 

Dr. Cissy Kityo akulira JCRC agambye nti Uganda ekwata kifo kya kuna mu mawanga ga Africa okubeera n'obulwadde bwa sikoseero (Nnalubiri) n'olwekyo ng'okuzimba ekifo ekiteeka obusomyo mu balwadde kyakuyamba Bannayuganda bangi. 

Julius Kakeeto akulira Pearl Bank agambye nti beegasse ku kaweefube ono nga baagala okutumbula obulamu bwa Bannayuganda bebakoleramu emirimu. 

Katikkiro Mayiga (wakati) mu kifananyi ne Bannalotale, abakungu ba JCRC wamu n'aba Pearl Bank

Katikkiro Mayiga (wakati) mu kifananyi ne Bannalotale, abakungu ba JCRC wamu n'aba Pearl Bank

Ye Geoffrey Martin Kitakule nga ye Gavana wa Lotale mu disitulikiti 9213 agambye nti omulimu guno munene nga gwetaaga obuwumbi obusukka 14 okuteekawo ekifo kino n'asaba buli alina ennusu yonna ayanirizibwa. 

Kitakule agambye nti watereddwako linki abantu abanaddukirira omulanga guno kwebanayita okuwaayo ssente ku mulimu guno ogwetaaga okumalirizibwa mu bbanga eritali lyeewala.
Yagambye nti yenna ayagala okwetaba mu kaweefube ono agenda ku mukutu