Amawulire

PASITA AFUDDE: Omugoberezi gw’abadde asabira amukubye tteke enkambwe

OMUGOBEREZI agambibwa okulinnyibwako emizimu, akubye paasita tteke enkambwe mu kifuba n’afiirawo bw’abadde akumye essaala okumugobamu emizimu.

Paasita Ekamu (ku kkono) ku mukolo ogumu gye buvuddeko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUGOBEREZI agambibwa okulinnyibwako emizimu, akubye paasita tteke enkambwe mu kifuba n’afiirawo bw’abadde akumye essaala okumugobamu emizimu.
Paul Osagani 30, omutuuze ku kyalo Mutebe mu muluka gw’e Omagara, mu disitulikiti y’e Serere, aba ffamire ye baamututte mu kkanisa okumusabira oluvannyuma lw’okutabuka omutwe, kye baalowoozezza nti kyavudde ku mizimu.
Paasita John Michael Ekamu 52, omutuuze ku kyalo Osokotoit, yavudde awaka ng’asiibudde mukyala we Anna Grace Ajoto ku Lwokubiri ku ssaawa emu ey’akawungeezi, ng’amugambye nti waliwo omuntu atawaanyizibwa emizimu gw’agenda okusabira, era nga waakudda nkeera.
Bwatyo musajja wa Katonda n’ayolekera ekkanisa gy’abadde asumba eya Agule Pentecostal Assemblies of God (PAG) ku kyalo Ocupo, mu kusaba kw’okuyita mu kiro ekyakeesezza olwa Ssekukkulu okwagendereddwaamu
okusumulula abalwadde abaliko emizimu, ebitambo n’ebikolimo.
Bwe yatuuse ku kkanisa, ne batandika okuyimba ennyimba ezikoowoola mwoyo mutukuvu. Ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro nga mwoyo alinnye bulungi, Paasita Ekamu yasembedde kumpi n’awaabadde omulwadde amusseeko emikono, amugobemu
omuzimu.
Mu kiseera ekyo, abagoberezi buli omu yabadde akoowoola mwoyo, nga paasita
bw’asemberera Osagani eyabadde asiriikiridde ng’ebigenda mu maaso alaba birabe. Olwabadde okumussaako emikono, Osagani yagaludde tteke omulundi gumu n’asamba Paasita mu kifuba, n’agwira abagoberezi abaabadde bannyikidde mu mwoyo. Amangu ago, mwoyo yabaamuse, ne bayoolayoola Paasita, naye eby’embi nga takyavaamu
kigambo era n’abafaako!
Ekamu abadde yaakasumbira ekkanisa eno emyaka 10. Mukyala w’omugenzi, Anna
Grace Ajoto, yagambye nti omwami we yamusiibudde ng’amusuubizza okudda enkeera
kuba yabadde agenda kusumulula bantu abasibiddwa enjegere za sitaani.
Ye Dr. James Otim, akulira eddwaaliro lya Serere Health Centre IV, yagambye
nti akalulwe ka Paasita Ekamu kaakoseddwa nnyo olw’ensambaggere eyamukubiddwa
ekyamuleetedde okuvaamu omusaayi omungi munda mu lubuto n’ekifuba.
Omuduumizi wa Poliisi mu East Kyoga Damalie Nachuha, yagambye nti Poliisi
ekyanoonyereza okuzuula ekituufu ekyabaddewo, era  fayiro egguddwaawo