Amawulire

Omwana wa Ambasada yeekubye essasi mu butanwa

NGA waakayita wiiki nga nnaggagga Sudhir Ruparelia afiiriddwa mutabani we Rajiv mu kabenje ka mmotoka, omugagga omulala afiiriddwa mutabani we oluvannyumalw’okwekuba essasi mu butanwa.

Robert Kabonero eyafudde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

NGA waakayita wiiki nga nnaggagga Sudhir Ruparelia afiiriddwa mutabani we Rajiv mu kabenje ka mmotoka, omugagga omulala afiiriddwa mutabani we oluvannyuma
lw’okwekuba essasi mu butanwa.
Ne gye buli kati gikyali miranga na biwoobe, mu ffamire y’eyali omubaka wa Uganda e Tanzania ne Rwanda, Richard Kabonero.
Kiddiridde mutabani we asembayo, Robert Kabonero, 24, abadde amannyiddwa nga ‘Bobby’ okufiira mu ddwaaliro lya Agha Khan, mu kibuga Nairobi e Kenya, ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde (May 9) gy’abadde amaze emyezi esatu bukyanga yeekuba essasi mu bulago ng’akozesa emmundu ya kitaawe.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yategeezezza Bukedde, nti engeri
omugenzi gye yafiiridde wabweru w’eggwanga, tebannaba kumanya oba ng’ekiwundu ekyogerwako kye kyamuviiriddeko okufa oba  nedda.
Yasuubizza okwongera okwekenneenya ensonga eno, oluvannyuma Poliisi esobole okutegeeza eggwanga ekituufu.
 Ku Lwomukaaga, ffamire y’omugenzi yategeezezza nti baali mu nteekateeka z’okuggyayo omulambo guleetebwe mu Uganda, oluvannyuma bakole ku
by’okumusabira n’okuziika.
Abamu, okufa kw’omugenzi, basinze kukwesigamya ku ssasi omugenzi lye yeekuba
n’asannyalala omubiri.
Wabula ekyamuviirako okukola kino, kikyakubanya bangi empawa
kubanga omugenzi abadde untumulamu nnyo.
Kitaawe w’omugenzi, Richard Kabonero yategeezezza nti mutabani we abadde mukkakkamu, omuwulirize, era ng’awa buli omu ekitiibwa okutuukira ddala ku
muwejjere asembayo.
Kitaawe ayongerako nti omugenzi abadde ayagala nnyo banne, era nga w’abeera buli omu abeera mugumu kuba abadde taganya kabi konna kubatuukako.
Wadde ng’abadde asinga kubeera mu Amerika, gye yazaalibwa nga July, 31, 2000,
mu ddwaaliro lya Holly  Cross, erisangibwa mu Maryland, ffamire yategeezezza nti abadde ayagala nnyo ensi ye Uganda, era ng’atera n’akomawo okubalabako n’emikwano gye. Y’abadde omwana asembayo mu baana bana,
okuli; Esteri, Ritchie, ne Amanda, abazadde be  bazaala.
W’afiiridde nga yaakamaliriza emisomo gye mu by’obusuubuzi ku yunivaasite ye Washington College, esangibwa mu Chestertown, era ng’abadde atandise n’okutendekebwa ku yunivaasite ye Pennsylvania State Universityokuyiga eby’amata. Okusinziira ku ffamire ye, okuva lwe yatwalibwa e Nairobi, abadde assiza ku byuma, olw’embeera embi gy’abaddemu okumala emyezi esatu ng’ajjanjabibwa