Poliisi e Ttula mu Kawempe, ekyagenda mu maaso n'okuyigga ababbi abagambibwa okutambuliza embuzi 9 n'endiga 5 mu kamotoka akatono.
Ababbi bano, kigambibwa nti ebisolo, babadde babitambuliza mu mmotoka premio nnamba UAB 147 H era okubiraba, mmotoka emaze kukola akabenje e Ttula nga poliisi ennawunyi okuva e Matugga egiwondera.
Bibaddewo ng'obudde bukya, mmotoka bw'ekubye akagulumu okumpi n'ekkolero lya Riham e Ttula era abagibaddemu ne badduka.
Poliisi ennawunyi okuva e Matugga w'etuukiddewo, ng'ababbi badduse kyokka ng'ebisolo mwebiri era ne biggyibwamu okutwalibwa ku poliisi e Ttula, gye bikuumirwa .
Ensonda zitegeezezza nti mmotoka nayo ekuumirwa mu kifo ekyo nga banoonya bannyini yo n'okuzuula wa, ebisolo gye baabibbye.