OMULWANIRIZI we ddembe lya bantu mu ggwanga era ayaliko Minister Hon Miriam Matembe akalaatidde abakyala oba abawala okwelwanako basobole okwewala okunyigirizibwa abasajja .
Bino Matembe okubyogera abadde ntebe mu kujaguza olunaku lw'abakyaala olubadde ku SOS childrens Village kifo ewakumirwa abaana abatalina buyambi ku Baita Ababiri
Agenze mu maaso n'agamba nti ensonga lwaki waliwo okusosola wakati wabakyala n'abaami kiva nzikiriza mu by'obuwangwa , enzikiriza mumadiini kyagamba nti sikirungi kubanga omusajja byasobola okukola n'omukyala asobola okubikola ate olumu nasinga n'omwami .

Miria Matembe mu bikujjuko by'olunaku lw'abakyala ku Baita Ababiri.
Ono agambye nti okusobola mu bakyala kiviirako okulemesa ne nkulakulana mu ggwanga kubanga abakyala balemesebwa okukola n'ebintu bye bandisobodde okukola .
Assembyeyo nga agamba baagala embeera ezinyigiriza abakyala nga zivaawo nadala okulemesa abakyala okusika singa omuntu affa , okubagana okugenda kusomero , okubatuugunya ewaka byagamba nti bikolwa bikyaamu nnyo ebirina okulwanyisibwa .
Ebijjaguzo bino bitambulidde kumulwamwa ogugamba nti Scaling up investiment to accelerate access to justice for all women and girls in Uganda