SSAABALABIRIZI w'ekanisa ya Uganda, Dr. Samuel Kazimba Mugalu agambye nti ekkanisa malirivu okutumbula omutindo gw'ebyenjigiriza mu masomero gaayo.
Martin Mugisha Akulira Pearl Bank ng'ayogera
Dr. Kazimba okwogera bwati asinzidde Mengo ku Lwokutaano SS ku mukolo Pearl Bank kwekwasiriza ekkanisa pikipiki ttaano zikozesebwe abalambuzi b'amassomero g'ekanisa mu buli Bulabirizi era bano n'abeebaza okubayambako okutuukiriza ekiruubirirwa ky'okutumbula eby'enjigiriza.
Martin Mugisha nga y'akulira emirimu mu Pearl Bank agambye nti basanyufu olw'okukwatagana n'ekitongole ky'ekanisa eky'ebyenjigiriza okusobozesa okutuuka ku buli ssomero okulondoola ebigenda mu maaso era neyeyama nti baakulaba ng'Obulabirizi bwonna buggwaayo.

Dr Kazimba n'aba Pearl Bank mu kifananyi
Can. Dr. Paul Kakooza nga y'atwala ebyenjigiriza mu Kanisa ya Uganda agambye baagala okulaba ng'ekitongole ekitambula amassomero kituukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe nga ku pikipiki zino amassomero gagenda kuweebwa ne iPad okutereeza eby'ensoma.
Dr. Kakooza agambye nti ekanisa erina amassomero geyalondobamu n'ekigendererwa ky'okugawagira gabeere ku mutindo olwo gafuuke eky'okulabirako eri amalala.
Omukulu w'essomero lya Kijjabwemu SS mu kibuga Masaka, Baker Kyaluzi nga y'akikkiridde Obulabirizi bwa West Buganda agambye nti basanyufu okuweebwa pikipiki nga zakubayamba okukola emirimu gy'obulabirizi egy'ebyenjigiriza beeyongere okukola obulungi okusinga nebwebabadde bakola nga tebanafuna ntambula.
Obulabirizi obulala obutereddwa pikipiki zino kuliko; Lango, Madi West Nile, Muhabura ne Bukedi