Amawulire

POLIISI y'e Luweero ekutte omuvubuka agambibwa okupangisa loogi n'atugiramu muganziwe

POLIISI y'e Luweero ekutte omuvubuka agambibwa okupangisa loogi n'atugiramu muganziwe ng'amulanga kumubadala n'aganza abavubuka abalala.

Boaz Namanya
By: Kanyike Samuel, Journalists @New Vision
POLIISI y'e Luweero ekutte omuvubuka agambibwa okupangisa loogi n'atugiramu muganziwe ng'amulanga kumubadala n'aganza abavubuka abalala.
 
Boaz Namanya (27) yavudde Kitovu mu disitulikiti y'e Wakiso n'apangisa loogi mu kabuga k"e Ziroobwe mu Luweero mwe yattidde muganziwe Caroline Kemirembe (26) omutuuze w'e Kikyusa mu Luweero nga yeeyambisa akambe.
 
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti bino byabaddewo ku Sande ku ssaawa mwenda ez'olweggulo omukwate bwe yapangisa ekisenge mu loogi ya  Kayiwa Complex Bar and Lodge n'ayita muganziwe beesanyuseemu.
 
Kigambibwa nti abaddukirize baawulidde omuntu eyabadde alaajana mu kisenge kya loogi oluvannyuma ne basanga omukwate nga naye aboyaanira mu loogi nga kigambibwa yabadde yeewadde obutwa yeggye mu budde.
 
Baamututte mu ddwaliro okujjanjabwa, poliisi yagenze mu loogi n'egyamu ebizibiti omuli akambe n'amasimu abiri ga sseereza  ate omulambo ne gutwalibwa e Kasana okwongera okugwekebejja.