Akulira ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija, ayozaayozezza ebitongole by'okwerinda ebikoze obutaweera okukwata omuserikale agambibwa nti yakuba abantu abana amasasi n'abatta.
Anguyo kigambibwa nti nga Feb 23 omwaka guno, yakuba amasasi agatta amyuka mukama we , n'amuddirira, mukyala wa mukama we n'omwana waabwe omuto ow’omwaka ogumu e Kiboga.
Dr. Byabashaija, yassaawo ekirabo kya bukadde 10 eri omuntu yenna amanyi amayitire ga Anguyo, okutuusa lw'akwatiddwa okuva e Congo ab'ebyokwerinda .
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera, Frank Baine, agambye nti yatuusiddwa dda ku poliisi e Kiboga era ng'ekiseera kyonna, wakusimbibwa mu kkooti ku misango gy'okutta.
Yeebazizza abeebyokwerinda abakoze obutaweera, okukwata omusajja ono owobulabe era n'alabula n'abalala abeeyisa obubi, nti baakukangavvulwa.