Omuduumizi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga Dr Johnson Byabashaija, ataddewo obukadde 10 eri oyo anaabawa amawulire agakwatagana ku musirikale w'ekitongole kino, agambibwa okukuba abantu bana amasasi agaabatta e Kiboga.
Ettemu lino, lyaliwo wiiki nga bbiri eziyise e Kiboga, omisirikale nnamba 13544 Moses Anguyo, gy'agambibwa okukubira amasasi amyuka mukamaawe, n'amudirira, mukamukamaawe n'omwana waabwe n'abatta.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, agambye nti bataddewo ekirabo kya bukadde 10 eri oyo abeera amulabye nga bategeeza, a boobuyinza.