ABAKULEMBEZE mu Nakawa basimbidde Ekkuuli ekiragiro kya KCCA eky’okusasulira kasasiro ku lunaku lwa bulungibwansi olwateekebwawo Gavumenti nga bagamba nti kino kigenda kutiisa abantu okumukungaanya.

Aba KCCA nga basomba kasassiro eyakunganyizibwa mu bulungibwansi okumuteeka ku mmotoka
Nga bakulembeddwamu Mmeeya, Ali Buken basinzidde ku kitebe kya Munisipaali e Nakawa nebategeeza nga bwebategeezeddwa Town clerk we Nakawa nga abatuuze bwebagenda okutandika okusasulira kasasiro gwebanabeera bakunganyizza ku lunaku lwa bulungibwansi nga buli muntu omuwendo gwakasasiro gw’analeeta kwekujja okusinziira omuwendo gw’ensimbi z’asasula.

Mmeeya Buken nga alamusa abamu ku bakansala
Buken alaze okutya olw’entekateeka eno gy’agamba nti teyalowozezza ku bamufunampola nga n’ekisinga obubi baabitesezza nga tebabebuzizaako nga abakulembeze abakiikirira abantu.
Agambye nti mu ntekateeka eno omuntu alina kasasiro aweza akakutiya ka kkiro 50 alina okusasula ensimbi 1000/= ky’agamba nti kino kigenda kutiisa abantu naddala abalina kasasiro omungi ate baddemu bamuyiwe mu myala akole obulabe omuli n’amataba.

Mmeeya Ali Buken (Wakati) mu lukiiko
Anokoddeyo ebitundu nga Mutungo nga muno mwemusinga abantu abangi nga eno baagerekeddwa 3000/= buli aleeta kasasiro ky’agamba nti tekiba kya bwenkanya.
Asabye nga tebannaba kuteekesa mu nkola kiragiro kino, basooke baddemu batuuze abakulembeze bateese nabo bababuulire obulabe obuli mu ntekateeka eno olwo nabo basalire wamu amagezi.
Amyuka mmeeya we Nakawa era nga ye Kansala we Kinawattaka ewatera okukubibwa ennyo amazzi alaze okutya olw’entekateeka eno n’agamba nti wano baba nga abaleetera abantu okufa kubanga bajja kumuyiwa mu myala gizibikire olw’okubulwa ensimbi.

Mmeeya Bukeni ne bakansala
Minisita atwala eby’obulamu ku lukiiko lwa KCCA e Nakawa yenyamidde n’ategeeza nga kino bwekigenda okuviirako abantu okuzza obucaafu mu myala ate bakwatibwe endwadde eziva ku bucaafu.
Sipiika we Nakawa Jalia Nalubwama atabukidde abakulembeze ku KCCA b’agamba nti baaabalimba nti obuyinza baabuzza ku magombolola kyokka nga kyewunyisa okuba nga bakola ebiteeso byabwe ate nga tebebuuzizza ku bakulembeze ku magombolola.